Omuyimbi Alien Skin, emyezi mitono emabega, yategeeza nga bw'atasobola kuyimbira ku siteegi y'emu ne Pallaso lwa kumuyisaamu mpi ng'omuzadde akuba omwana we.
Embiranye eno yaviirako Alien Skin okutegeka ekivvulu ku lunaku lwe lumu ne Pallaso okumulaga nti wadde yali amutimpudde naye eky'obutamuddiza yamwongera maanyi.
Pulomoota eyategeka ekivvulu ng'ataddemu abayimbi bombi okuyimbira ku siteegi y'emu e London ekya Bungereza, kyamubuukako Alien bwe yeecanga ku ssaawa esembayo ng'agamba tasobola kuyimbira ku siteegi y'emu n'omuntu eyamuyisaamu empi. Kino kyaviirako pulomoota okusazaamu viza ya Pallaso n'atwala Alien Skin kuba ye muyimbi eyaliko.
Wabula ku wiikendi, Alien Skin yalidde ebigambo bye bwe yalinnye ku siteegi y'emu n'ayimba ne Pallaso.
Abayimbi bano bombi baabaleese ku siteegi y'emu e Masaka mu kivvulu ekyategekeddwa leediyo y' e Masaka emu.
Ababiri bano kyandiba nga baagonjoola obutakkaanya bwabwe wabweru wa kamera n'amawulire. Owoolugambo waffe yagezezzaako okukubira Alien Skin okutangaaza ku nsonga eno nga takwata.