ABAGAGGA baliiridde obulamu ku mazzi e Busaabala ku kabaga ka munnaabwe Bills Kagimu amanyiddwa mu kuvuga mmotoka ez’ebbeeyi.
Baapangisizza amaato gonna ku Kaazi Beach ne balagira buli eyabaddewo alinnye babavuge.
Bebe (ku Ddyo) Naye Yasoose Ku Kabaga Nga Tannagenda Bungereza.
Wabula omuvuzi wa mmotoka z’empaka Ronald Ssebuguzi naye eyabaddewo, yagaanyi okulinnya ku mazzi nti ye amaanyi ge gali ku lukalu mu kuvulumula mmotoka.
Omugole Bills yapanze mmotoka ze ez’ebbeeyi buli eyabaddewo ne yeewuunya era ne yeewaana nti kati agenda kugula eryato lya kawumbi ayawukane ku bagagga banne abamumanyidde mu mmotoka.
Akabaga kaabaddeko omuziki, abayimbi n’omwenge kumpi gwe banaabye munaabe.