Bya Margaret Zalwango
SSENTEBE wa disitulikiti y’e Amudat, Francis Adamson Kiyonga 50, asindikiddwa mu kkomera lwa kutunda mmotoka ya gavumenti.
Ono asimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Matugga n’avunaanibwa okutunda mmotoka ya gavumenti eyamuweebwa okutambuza emirimu gy’abavubuka mu bitundu bya Karamoja.
Kiyonga yakwatiddwa akakiiko akalwanyisa enguzi mu bakozi ba gavumenti aka State House Anti Corruption Unit akakulirwa Lt. Col Edith Nakalema. Yali yadduka okuva lwe yatunda emmotoka.
Omukulu ono mmotoka yamuweebwa mu 2017 okuva mu ofiisi ya ssaabaminisita ezaweebwa abakozi ba gavumenti ez’ebitundu okukola emirimu gya disitulikiti. Mu 2017 kigambibwa nti mmotoka eno nnamba UG 0653Z ekika kya Ranger Double Carbin yafuna akabenje mu ku luguudo lw’e Bombo poliisi n’egitwala ku poliisi y’e Matugga .
Oluvanyuma Kiyonga yagenda ku poliisi eyo okufuna mmotoka ng’amaze okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bagenda okugimubuuza nga terabikako. Kigambibwa nti mmotoka eno ebalirirwamu obukadde 130 era Kiyonga bagenda okumukwata ng’agitunzeemu sipeeya ng’asigazzaawo yingini yokka.
Kiyonga ng’ayita mu looya we Jonan Nuwaninda asabye kkooti emukkirize okweyimirirwa kyokka abantu be babadde tebanatuuka omulamuzi n’amutegeza nti kaamuwe olunaku olulala bajje nga beetegese bulungi.
Omuwaabi wa gavumenti Betty Twaidhukira Mpaata ategezezza kooti nti okunonyereza kuwedde bamuwe olunaku omusango gutandike okuwu1irwa.