Poliisi egumbuludde abaazinze amaka g’omubaka olw'ettaka

POLIISI egumbuludde abatuuze abasoba mu 150 okuva e Kiboga abaabadde bazinzeekoamaka g’omubaka Sam Bitangaro owa Bufumbira County South e Bugoloobi nga bamulumiriza okubafera n’abaguza ettaka eritaliiyo oluvannyuma lwa gavumentiokubasengula mu kibira ky’e Luwunga.

Poliisi egumbuludde abaazinze amaka g’omubaka olw'ettaka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI egumbuludde abatuuze abasoba mu 150 okuva e Kiboga abaabadde bazinzeeko
amaka g’omubaka Sam Bitangaro owa Bufumbira County South e Bugoloobi nga bamulumiriza okubafera n’abaguza ettaka eritaliiyo oluvannyuma lwa gavumenti
okubasengula mu kibira ky’e Luwunga.

Abatuuze bano abeegattira mu kibiina kya Kiboga Twegatte Cooperative Ltd. nga bakulembeddwa Julius Turyamureeba be baazinze amaka ga Bitangaro ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo ku Lwokuna nga baagala abalage ettaka lye yabagulira nga bwe yategeeza akakiiko ka Col. Edith Nakalema akaali kanoonyereza ku nsonga zino.

Turyamureeba agamba nti oluvannyuma lwa gavumenti okubagoba ku ttaka ly’ekibira kye Luwunga Central Forest Reserve e Kiboga mu 2010, abantu abasoba mu 40,000 okuva mu maka 2,500 ku byalo bisatu be baasengulwa.

Omubaka Sam Bitangaro (kuddyo) Ng’atuusibwa Ku Kkooti E Makindye Gye Yavunaanibwa Ku Ttaka Ly’e Kiboga

Omubaka Sam Bitangaro (kuddyo) Ng’atuusibwa Ku Kkooti E Makindye Gye Yavunaanibwa Ku Ttaka Ly’e Kiboga

Beekubira enduulu eri gavumenti ebayambe kubanga baali tebalina we bayinza kugenda era Pulezidenti Museveni ne kkampuni ya Oxfarm International ne World Bank ne babawa obuwumbi 3 n’akawumbi 1.5 okugula ettaka eddala.

Mu 2014, Bitangaro yabategeeza nga bwe yalina ettaka ly’okubaguza era n’abaguza
ettaka ly’e Bukompe –Kyakatebe Nalutuntu e Kassanda nga lyali liwezaako yiika 780 nga baamusasula ssente akawumbi 1.3.

Kyokka oluvannyuma baakizuula ng’ettaka lino teryali lirye nga n’ekyapa kye yabawa tekyali kituufu, lyaliko enkaayana okuva mu bantu ab’enjawulo okuli; Abid Alam, Safi na Kabazarwa n’omukyala eyabategeeza nti ye Natasha okuva mu maka ga
Pulezidenti.

Yusuf Mwesigwa agamba nti okuva bwe baagenda ku ttaka lino bafuniddeko ebizibu
ng’ebirime byabwe bisaayibwa, basibibwa era waliwo ne bannaabwe abatemeddwa ebiso abamu ne bafa kyokka buli bwe bamutegeeza ku nsonga eno abagamba nti ettaka lyabwe gyeriri.

Fred Kayima yategeezezza nti Bitangaro abatambuzza kati emyaka musanvu talina
ky’abakolera era baddukirako mu kakiiko ka Col. Nakalema akalwanyisa abalyake, Bitangaro ne bamukwata n’asibibwa era n’akkiriza nga bw’agenda okubagulira ettaka eddala kyokka akyagaanyi okukituukiriza nga buli w’abatwala ate nga yeekyusa.

Baasazeewo okugenda ku maka ge e Bugoloobi abatwale ku ttaka lye yabagulira kubanga kati tebalina we babeera bali mu kubonaabona ate nga baamusasula ssente
zaabwe.

Turyamureeba yagambye nti bwe baagenze mu ofi isi ya Col. Nakalema okuddamu
okwekubirayo enduulu yabategeezezza nti Bitangaro yabagulira ettaka kyokka
bo ne bagaana okuligendako.

Bano baategeezezza nti si kituufu tewali ttaka lyonna lye yabagulira nga buli w’abatwala ate yeekuba n’agaana okuligula.

Bitangaro bwe yategedde nti abatuuze bano balumbye amaka ge, yaddukidde ku poliisi ya Jinja Road eyabadde ekulemberwamu agikulira Sperato Bainomugisha eyazze n’ebagoba mu maka gano era ne batwalibwa ku poliisi y’e Jinja Road gye babeera bagonjoolera ensonga zaabwe era gye baasuze.

Bitangaro bwe yatuukiriddwa, yagambye nti tayinza kwogera ku nsonga zino kubanga baamuggulako emisango nga waliwo ogw’obumenyi bw’amateeka oguli mu kkooti y’e Makindye n’omulala guli mu kkooti y’ebyettaka bwatyo tasobola kugwogerako.