OMUSAJJA ow’abakazi ababiri bamufumise ekiso n’afa oluvannyuma lw’okukwatibwa lubona ne muk’omusajja gw’agambibwa okusigula.
Ali Kalulu 37 ye yattiddwa nga kigambibwa nti Yakubu Isabirye 28 akola ogw’okusiika capati mu kabuga k’e Nambale ye yamusse oluvannyuma lw’okumusanga ne mukazi we Lydia Namukose 23.
Baabadde Nabukone mu ggombolola y’e Nambale mu distulikiti y’e Iganga.
Omugenzi baamutidde mu maka g’atwala ebyokwerinda mu ggombolola eno, (GISO) Joseph Ssande nga baabasanze mu kimu ku bisenge by’omu nnyumba.
Kansala w’eggombolora eno, Patrick Meme yagambye nti omu ku bakyala ba Isabirye ayitibwa Winnie Amumpiire yalabye omugenzi ng’ayingira mu nnyumba ne mugya we Lydia Namukose kwe kugenda n’atemya ku bba eyagenze n’ekiso n’amufumita.
Meme yagambye nti omugenzi we baamufumise ekiso mu kifuba yavuddemu omusaayi mungi era bwe yamaze okumufumita Isabirye ne mukyala we ne badduka omugenzi
n’afa nga baakamutuusa mu ddwaaliro e Iganga.
Meme yagambye nti omugenzi aludde ng’asigula muka Isabirye n’alumiriza mukyala wa GISO, Zubeda Kampi okubeera nga yabadde amumukwanira nga n’ensonga zatuukako mu ba LC ne poliisi wabula omugenzi n’amulemerako.
Abatuuze mu kitundu bategeezezza nga Isabirye bw’amaze ekiseera ng’alabula omugenzi okuva ku mukazi we era ensonga zibadde zaagenda mu boobuyinza
enfunda eziwerako.
Abatuuze baanenyeza GISO Joseph Ssande Kafufu atwala ebyokwerinda okuleka amaka ge ne gabeeramu ebikolwa bino.
Wabula Kafufu yagambye nti omugenzi n’omukazi gwe baamusanze naye bombi babadde bakozi be mu nnimiro nga naye abadde awulira oluvuuvumo nti baagalana
kyokka ng’ekituufu takimanyi ate nga kizibu kya kubiyingiramu.
N’agamba nti eky’okukolera obwenzi mu maka ge abadde tabimanyi era mu kiseera omusajja ono we baamuttidde yabadde taliiwo.
Ssentebe w’ekyalo, Philimon Balyejusa yategeezezza nga Isabirye bw’azze abaloopera ku ky’omugenzi okumusigulira omukazi we era ne bagezaako okumukomako wabula n’agaana okukyusaamu.
Abantu Nga Balaba Ennyumba Mwe Battidde Omugenzi.
Kyokka yavumiridde ekikolwa ky’okutta omuntu nti kikyamu kubanga naye eyakikoze tagenda kubeera na mirembe nga kati agenda kuleka amaka ge n’abakazi babiri nga yeekwese. Yasabye abantu okwewala okutwalira amateeka mu ngalo nga baliko ekibanyiizizza.
Poliisi ng’ekulembeddwa akulira okunoonyereza ku poliisi e Iganga, Andrew Bumba baagenze mu kitundu kino ne batandika okunoonyereza ku butemu buno.
Baakutte omu ku bakyala ba Isabirye, Winnie Amupiire abayambeko mu kunoonyereza.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya East Busoga, James Mubi yavumiridde ekikolwa kino n’ategeeza nga bwe batandise omuyiggo gwa Isabirye ku musango gw’okutta omuntu.