Poliisi esuulidde Patrick Oboi Amuriat emisanvu mu kkubo okumulemesa okugenda e Kasensero gy'abadde alina okukuba kkampeyini ze.
Poliisi esoose kugumbulula abawagizi be e Kyotera mu ttawuni w'abadde akubye olukungaana. Poliisi emutegeezezza nti abadde alina okukuba olukungaana lumu lwokka mu distulikiti y'e Kyotera amale agende e Rakai