Imported

Okuloota ng’oli lubuto giba mikisa

Gaagano amakulu g'ebirooto.

Okuloota ng’oli lubuto giba mikisa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Nakazi ow’e Kyanika atera okuloota ng’ali lubuto. Bw’obeera omuwala omuto kitegeeza mikisa, bw’obeera omufumbo kitegeeza kuganja mu ddya ate bw’obeera omukadde kitegeeza kuzzukuza.

                Omukazi Ng'ali Lubuto.

Omukazi Ng'ali Lubuto.

Jjingo ow’e Rakai yaloota ng’ali n’omukazi gwatamanyi nga babba ovakedo ku muti. Kitegeeza nga bw’oyagala ennyo ebintu ebipya naye ng’ate oluusi oyinza obutabyeyagaliramu.

Nassuna ow’e Bukuya yaloota ng’ali mu lusuku. Kino kibeera kirooto kya ssanyu gy’oli. Kitegeeza kwaza mmere n’okuganja mu ddya lyo.
Kirunda ow’e Kyamukaka yaloota ng’ali mu lugo oluzimbiddwa n’emmuli. Kitegeeza bizibu n’emitawaana egitakoma ebikulindiridde.

Ssennyange ow’e Kibuye aloota nnyo ng’ali ku biduula n’embeekuulo. Kitegeeza ntabukatabuka ne mikwano gyo oba mu maka go. 

Sulana ow’e Luweero yaloota ng’ava ku kintu ekiwanvu ennyo okugwa wansi, naye nga tatuuka wansi ng’akoma mu bbanga. Kitegeeza ng’ekiseera eky’okufuna byoyagala bwe kitannatuuka. Osaana obeere n’obugumiikiriza kubanga okupapa si y’enkomerero ya byonna.

Tags: