Okulonda bwe kwabadde e Lugazi, Masaka, Jinja, Mbale, Mityana ne Mbarara

EBYAVUDDE mu kalulu ka Bameeya ne Bakansala ba munisipaali okwetoloola eggwanga biraga nga NUP yasinze kukola bulungi mu Kampala ne munisipaali mu Buganda ate NRM n'ereebya mu bitundu ebirala.

Okulonda bwe kwabadde e Lugazi, Masaka, Jinja, Mbale, Mityana ne Mbarara
NewVision Reporter
@NewVision

Bya MADINAH SSEBYALA, JOAN NAKATE, DONALD KIRYA, FAIZAL KIZZA,  LUKE KAGIRI, HANIFAER NAMUWONGE, TOM GWEBAYANGA

EBYAVUDDE mu kalulu ka Bameeya ne Bakansala ba munisipaali okwetoloola eggwanga biraga nga NUP yasinze kukola bulungi mu Kampala ne munisipaali mu Buganda ate NRM n'ereebya mu bitundu ebirala.

Paul Besweri Isabirye eyavuganyizza ku bwakkansala bwa Walukuba West ng'alaga akalulu.

Akalulu kano kaafananye aka Pulezidenti n'ababaka ba palamenti ne Bassentebe ba LC5. Aba NUP baawangula mu Buganda ne Busoga ate NRM n'ekubira waggulu mu bitundu ebirala naddala obugwanjuba n'obukiikakkono bwa Uganda.

Mu munisipaali y'e Mukono, okuvuganya okw'amaanyi kwabadde wakati wa Erisa Mukasa Nkoyoyo (NUP) ne Dr. Daisy Sarah Nabatanzi (NRM). Nkoyoyo yawangulidde waggulu mu bifo awalonderwa ebisinga. E Mulago Nkoyoyo 30 ate Nabatanzi13. Martanity: Nkoyoyo 55 ate Nabatanzi 12, Butebe: Nkoyoyo 66 ate Nabatanzi NRM 18, Ntaawo Ward: Nkoyoyo 105, Nabatanzi 39. Mulago ku ddwaliro Nkoyoyo NUP 249 ate Nabatanzi 44, Buguju: Nkoyoyo 66 ate Nabatanzi 20.

Jacob Kafureka eyavuganyizza ku bwammeeya e Ntungamo ng'alonda.

Masaka City mu Division Mukungwe, Gerald Kawuma (independent) yattunse ne Michael Mulindwa(NUP). Kalagala: Kawuma 91 ate Mulindwa 44. Ye Andrew Matovu Kabulasoke (independent) yafunye 19 ne Godfrey Ntale owa NRM 00. Kalagala Cop Sch: Kawuma 89, Mulindwa 95, Kabulasoke 43, Ntale(NRM) 24. Ku Ssaza A: Kawuma71, Mulindwa100, Kabulasoke 35, Ntale 18.

Kiteza: Kawuma 05, Mulindwa 82, Kabulasoke 12 , Ntale teyafunyewo kalulu. Kidda Play Ground: Kawuma 147, Mulindwa 46, Kabulasoke 07, ate Ntale owa NRM teyafunyewo kalulu. Mu Division ya Kimaanya Kabonera:, Steven Lukyamuzi awa NUP yabadde aleebya Dick Muwanga(DP) ne Hamidu Bukenya(NRM).

Meddy Kafuko eyavuganyizza ku kya meeya wa Iganga ng'alonda.

LUGAZI Deo Tumwesigye Mbabazi (Independent) yattunse ne John Bosco Aseya (FDC). Owa NRM ne NUP tebaakoze bulungi mu bitundu ebisinga. Kitega A-L: Aseya 85, Tumwesige 46, Kitega O-Z: Aseya 36 ate Tumwesigye 14, Kitega NALNZ; Aseya 47 ate Tumwesigye 68. Wabula Omuluka gw'e Kizigo gwawanguddwa Aseya eyafunye 312 ate Tumwesigye 199. MUBENDE: Okuvuganya okwamaanyi kwabadde wakati wa Geofrey Latigo atalina kibiina , Ronald Kakinda NUP ne Innocent Ssekiziyivu NRM.

MITYANA yawanguddwa Foustine Mukambwe Lukonge (NUP) eyamezze Esther Ndyanabo(NRM) ne Richard Kyambadde(DP). KAMULI: Aziz Luwano 45,owa NRM yawangudde Twahiri Waiswa (NUP) ne Mutesi. Ku St. Mark-Kamuli, Luwano 61, Waiswa 21. Ate Mutesi 18. Ku Posita wano Luwana 91, Waiswa 57, Mutesi 21. Mu Estate: Luwano 90, Waiswa 21, Mutesi 20. Ku St. Mary's Namisambya , Luwano 222, Waiswa 36, Mutesi 22 ate ku Divine Lunwano 110, Waiswa 36, Mutesi 17.

Lukonge eyawangudde e Mityana.

JINJA: Mubarak Kirunda atalina kibiina yabadde aleebya Naser Ashraf mu Southern Division. Abalala Badman Musisi (NUP) ne William Egusa owa FDC baakoobedde. Ate mu Nothern Division Ayub Wabike (FDC) yabadde akulembedde n'addirirwa Stephen Wante(NRM).

MBALE: Okuvuganya okwamaanyi kwabadde wakati wa Muhamood Masaaba(NRM) ne Kalid Masa(FDC). Abalala Allan Makweta (NUP) ne Robert Mukamba atalina kibiina baabadde bakola bubi. Mbarara City: Aba NRM baabadde bakulembedde.

Mbarara City North, Kyabwisho Gumisiriza yabadde attunka ne Benon Mugume gwe yawangula mu kamyufu (NRM yabadde evuganya NRM). Ate mu Mbarara City South Jomo Mugabi owa NRM yamezze abalala bataano. Hoima City erimu Hoima West Division ne Hoima West. Okuvuganya okwamaanyi mu West kwabadde wakati wa Robert Ruhingwa owa NRM ne Daniel Sembooze owa NUP. Owa NRM yabadde aleebya. Ate mu East Bosco Muamuzi owa NRM ne Ali Babi atalina kibiina.

E Hoima byatabuse Mu Hoima West, ku bifo 12 ebironderwamu, okulonda Bakansala kwasaziddwamu kubanga obubonero bwatabuse ababiri ne babateekerako akabonero akafaanagana ate awalala ow'ekisumuluzo Miriam Wayirimo eyavuganyizza ku kya mmeeya wa Njeru munisipaali ng'alonda ku muzikiti e Namwezi. Paul Besweri Isabirye eyavuganyizza ku bwakkansala bwa Walukuba West ng'alaga akalulu.

Okulonda bwe kwabadde e Lugazi, Masaka, Jinja, Mbale, Mityana ne Mbarara baamuteereddeko nkumbi. Douglas Masiko akulira ebyokulonda e Hoima kwe kulangirira nga bw'asazizzaamu okulonda.

Login to begin your journey to our premium content