Bya Silvano Kibuuka
Empaka zitandika April 5 nga tiimu 32 zokka okuli 16 eza Super ne 16 za Big League ze zikkiriziddwa okwetaba mu mpaka zino ng’abategesi basinzidde ku kuziyiza kusasaanya kirwadde kya Corona.
Zaakutandikira ku musingi gwa kukyaliragana okwawukana ku zaabulijjo ezibeeramu ttiimu ezisoba mu 100 ezitandika n’okusirisizaawo.
Proline FC abaasemba okukiwangula mu 2019 akalulu kabasudde ku MYDA FC gye bakyaza e Lugogo so nga Vipers SC abaaweereddwa ekikopo kya liigi ya 2020 kabasudde ku Busoga United FC era nga basookera Kitende.
KCCA FC egenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za Confederation Cup oluvannyuma lwa Stanbic Uganda Cup 2020 obutaggwa olwa Corona nayo etandikira ku kukyaza Nyamityobora e Lugogo nga emipiira 16 gye gigenda okusambibwa mu luzannya oluggulawo empaka zino.
“Empaka tezikkirizibwamu bawagizi nga bwe kiri mu liigi. Abakulira ebisaawe ebikyaza bateekeddwa okutuukiriza ebisaanyizo omuli okunaaba engalo,” omumyuka wa CEO wa FUFA Humphrey Mandu bwe yategeezezza.
Ttiimu endala nga bwe ziyimiridde nga April 5:
Terazo v Maroons, Onduparaka v Luwero United, Water FC v Wakiso Giants, Kitara FC v Kigezi Home Boys, Black Power v Bul FC, Gadafi FC v Mbale Heroes FC, Kyetume Fc v Express FC, Kataka FC v Tooro United, Paidha Black Angels v Soltilo Bright Stars, URA v Mbarara City FC, Police FC v Calvary FC, Arua Hills FC v UPDF FC, SC Villa v Ndejje University.