OMUDDUGAVU eyasooka okukulira essomero lya Gayaza Junior School okuva mu 1975 okutuuka 1980, Berry Nansimbi Jjagwe afiiridde ku myaka 84.
Mu kiseera Nansimbi we yabeerera omukulu w’essomero lya Gayaza Junior School, ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda yali muyizi mu ssomero lino era ye yabadde
omukungubazi omukulu mu kusabira omugenzi mu Lutikko e Namirembe ku Lwokusatu.
Nansimbi yayogeddwaako ng’omukyala eyalina ekirabo ky’okwagala ng’ayagala nnyo essomo ly’okubala era nga muyonjo ate afa ne ku balala ng’omukwano
teyagukomyanga ku baana be, abooluganda n’abantu be yakolanga nabo ne b’abeera nabo.
Eyali Omulabirizi wa West Buganda Kefa Kamya mu kuziika omugenzi e Mpugwe – Masaka yamwogeddeko ng’omukyala abadde alina omukwano ogwannama
ddala ng’ogulabira ne ku ngeri bba Dr. Jack Jjagwe gy’akolamu emirimu gye kubanga omwami atalina ssanyu kizibu okukola obulungi emirimu gye.
Yagambye nti Dr. Jjagwe ye yali omusawo wa bazadde be era yabalabirira bulungi n’abasobozesa okuwangaala ng’ebiseera bye babadde basisisnkana nga n’omugenzi Nansimbi Jjagwe babeera naye nga mukyala alina akamwenyumweyu era n’omukwano.
Omugenzi yasomera Kings College Buddo gye yava okugenda mu ttendekero ly’abasomesa erya Buloba Teachers’ Training School n’oluvannyuma n’agenda e
Kyambogo. Yasooka kusomesa mu Kako SSS, n’adda e Nabisunsa Girls School n’oluvannyuma ne yeegatta ku Gayaza High School.
Bwe yali e Gayaza High baamulonda okubeera Omuddugavu eyasooka okukulira essomero lya Gayaza Junior School okuva mu 1973 okutuuka mu 1980. Yasomesaako
mu Buganda Road Primary School n’oluvannyuma yasalawo okuva mu busomesa ne yeegatta ku Uganda Commercial Bank. Yaweereza ebitongole ebiwerako nga yaliko pulezidenti wa YWCA era yaliko gavana wa Kings College Budo.
Yagattibwa ne bba Dr. Jack G.M. Jjagwe bwe baali basoma mu Kings College Budo. Dr. Jjagwe y’omu ku Bannayuganda abaasooka okufuna diguli y’Obwadokita mu
ggwanga.
Alese abaana mukaaga okuli; Anne Nabankema Bakyayita, Juliana Nasejje Jjagwe, Elizabeth Nabwamu Jjagwe, Diane Nassejje Kyukyu, Dr. John Nkalubo Jjagwe
ne Sylvia Nansimbi Namagga Owachi.
Dr. Nkalubo yayogedde ku nnyina ng’omuzadde, mukwano gwe, era nga byonna by’afunye abadde ye.
“Maama wandaga omukwano, era n’onfuula okubeera omuwanguzi.
Ebbaluwa zonna z’obadde ompandiikira zibadde zitandika nti, ‘Omwana wange omwagalwa John, kati kambeeko kye nkugamba, maama mukwano weeraba”, Dr.
Jjagwe bwe yategeezezza.
Ye muwala we omukulu Anne Nabankema yagambye nti maama we yabadde byonna gy’ali mu bulamu bwe era nga kw’alabira engeri omuntu gy’alina okutambuzaamu
obulamu.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda yakungubagidde Muky. Jjagwe.