Ku Lwokubiri April 6, 2021, bannabyamizannyo 4 okuva mu mizannyo egy’enjawulo baaweereddwa ebirabo bya ‘Fort bet Real Star sports awards’ olw’okusukkuluma ku balala omwezi oguwedde(March).
Ku mukolo ogw’abadde ku bbaala ya Route 256 e Lugogo, Joan Nampungu (kubaka), Irene Nakalembe(Golf), Derrick Kakooza(Mupiira) ne Maxwel Ebonga(Rugby) be baasiimiddwa olw’omutindo omulungi gwe boolesezza omwezi oguwedde.
Nampungu eyabadde yakasitukira mu birabo ebiri okuva mu mpaka za ‘Spar-Tri Nations Diamond Challenge ezibadde e South Africa wiiki ewedde, obuwanguzi yabutadde ku mpisa, okukola ennyo ate n’okwekkiririzaamu era wano we yasabidde bannabitone abato okukulembeza empisa basobole okusukkuluma.
“Neebaza Katonda olw’okunteekako okuganja ekinfudde ow’enjawulo naye mu byonna, empisa kikulu era nsaba buli alina ekitone aleme kwegulumiza,” Nampungu.
Isaac Mukasa nannyini ‘Real Star sports Agency’ yasabye bannamizannyo okwongeramu amaanyi kuba bbo beetegefu okwongera okubatunda n’okubasiima.
“Ebirabo bino tugenda ku bituusa ku ssa ly’obuvanjuba bwa Africa, tufunye abavuggirizi abawerako okuli ne ‘Canaan Investments’ era tuli beetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe,” Mukasa bwe yategeezezza.