Mukasa Omubaka omulonde owa Lubaga South obusuubuzi yabutandikira mu S6

ALLOYSIUS Mukasa agattako erya Talton Gold 34, nga musuubuzi ye mubakaomulonde owa Lubaga South alindiridde okulayira.

Mukasa Omubaka omulonde owa Lubaga South obusuubuzi yabutandikira mu S6
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ALLOYSIUS Mukasa agattako erya Talton Gold 34, nga musuubuzi ye mubaka
omulonde owa Lubaga South alindiridde okulayira.

Azze yeerandiza yekka nga yatandika okuyiiya ssente ku myaka emito nga
yaakatuula siniya eyomukaaga ku Merryland High School e Kigungu Ntebe.

Ye nnanyini kkampuni nnya FACO mu Ndeeba, ekola n’okutunda ebiriisa by’omubiri eby’enjawulo omuli; ebigezza n’ebisala ku mugejjo, era bangi bagimanyi ng’egezza obubina bw’abakyala ne bafuna ffiga.

Nnyina yamutuuma erinnya lya Talton Gold oluvannyuma lw’okumulabamu eky’enjawulo olw’obukujjukujju bwe yalaga mu buto, ate nga yalwala nnyo nnyina n’atuuka n’okulowooza nti agenda kumufi irwa wabula Mukama n’amutaasa olwo n’amutuuma Talton Gold ekitegeeza nti ye zzaabu.

                               Mukasa Eyalondeddwa.

Mukasa Eyalondeddwa.

OBUZAALE BWE N’OKUSOMA;
Mukasa azaalibwa Aloysius Kalyango ne Annet Naiga ab’e Mutundwe mu Lubaga South. Okusoma yakutandikira ku Kazinda Memorial PS e Kyengera gye yatuulira P7, S4 n’agituulira ku Lubiri SS, ate S5 n’agisomera ku St. Mary’s SS e Kitende olwo S6 n’agituulira ku Merryland high School e Kigungu Ntebe.

Musajja muyivu, alina diguli mu by’obusuubuzi n’okubala ebitabo gye yafunira
ku Ndejje University e Mengo. Obukulembeze yabutandikira mu ssomero nga yaliko omukulu w’abayizi ku ssomero lya St. Mary’s SS Kitende (head prefect).

Mukasa y’omu ku basuubuzi gw’oyinza okugamba nti tafiira ku bbala limu. Buli mulimu gw’alaba nti gufuna agugezaako ate n’agussaamu amaanyi. Bwe
gugaana agezaako ku mulala, era okukola ssente yakutandika yaakamala S6.

Bwe yali akyasoma, ye ne banne beegombanga nnyo okubeera n’emikwano gy’Abazungu (Pen pals/ pen friends).

                 Naiga Maama Wa Mukasa.

Naiga Maama Wa Mukasa.

Bwe yatuula S6, yagenda mu Internet Café n’atandika okunoonya emikutu gy’Abazungu
ng’agiguza banne abaalinga beetaaga Abazungu era bangi ne bafuna n’omukisa okubaweerera.

Wano we yatandikira okukola ssente era teyadda mabega. Yakubisanga ebipande
n’ateekako ennamba ze ez’essimu n’agenda ng’abitimba ku bisenge by’abantu ekiro, ng’alanga nti;
“Abaagala okufuna emikwano gy’Abazungu mukube ku ezo ennamba” era n’afuna bangi ddala. Olumu yali ku leediyo emu ku pulogulaamu y’abanoonya ababeezi n’awulira abakuba amasimu abaagala ababeezi nga bangi. Yafuna ekirowoozo
ky’okutandikawo omukutu ogugatta
ababeezi era n’akikola.

Yakozesa enkola y’emu ey’okutimba ebipande ku makubo okulanga ng’ayita abeetaaga ababeezi. Yakola ofi isi mwe baatuukiranga, nga buli ajja asooka kusasula
70,000/- okumugatta ku mubeezi gw’ayagala. Awo we yatandikira okukungaanya ssente eziwera.

Yafuna n’ekirowoozo okutandika bizinensi y’okukola n’okutunda ebiriisa by’omubiri eya FACO mu Ndeeba, n’eyitimuka nnyo mu bantu, gy’agamba nti emukoledde
bingi.

Teyakoma okwo, ssente bwe zeeyongera n’ayingira ne bizinensi ya Betting n’atandika ekibanda kya Betting ekya Bet4 oluvannyuma kye yaguza owa Winners Betting.

Yalowooza okutandika essomero lya International School, erya Dascuss e Najajanankumbi, wabula abayizi ne baba batono, kwe kusalawo alifuule lya mutendera
gwa wano.

Ye nnannyini kkampuni ya Bex Ltd ekola; Sanitizers, sabuuni wa Handwash
n’ebirongoosa (disinfectants).

Agamba bizinensi ze ezo zimukoledde eby’amagero n’afuna ssente empya n’enkadde kwe kusalawo ayingire mu byobufuzi agabaneko ne Bannalubaga abasakire
ku buyambi.

Musajja mufumbo, alina omukyala n’abaana basatu.

EBIMUTUUSIZZA KU BUWANGUZI
Mukasa ng’omusajja omugezigezi, yatandika okunoonya akalulu akamutwala mu Palamenti ng’ebula emyaka ebiri, akalulu yakateekamu ssente eziwera, naagula ambyulensi 2 n’aziteeka mu kitundu okuyamba abantu ku bwereere, ssaako ebimotoka
ebinuuna kazambi mu kabuyonjo 2 ku bwereere.

By’agamba nti bino bigenda kusigala nga bikola emirimu gye gimu era ku bwereere.