Maama Kisanja amezze Babu ne Ssempangi ku ky'abakadde

DR. TANGA Odoi akulira akakiiko k'ebyokulonda aka NRM alangiridde Peninah Busingye Kalenge (Maama Kisanja) nti ye yawangudde okukiikirira abakadde ba Buganda mu Palamenti.Busingye yakubidde waggulu ddala nga yafunye obululu 166, n'addirirwa Claudia Naluyima eyafunye 20, Rev. Keefa Sempangi yafunye 11, Francis Babu 9, Musisi Lutaakome 6 ate Hussein Lukyamuzi tewali yamulonze.Maama Kisanja yasiimye omukwano ogwamulagiddwa n'asuubiza okubaweereza obuteebalira ng'atuusa obuweereza obulungi.

Maama Kisanja amezze Babu ne Ssempangi ku ky'abakadde
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

DR. TANGA Odoi akulira akakiiko k'ebyokulonda aka NRM alangiridde Peninah Busingye Kalenge (Maama Kisanja) nti ye yawangudde okukiikirira abakadde ba Buganda mu Palamenti.

Busingye yakubidde waggulu ddala nga yafunye obululu 166, n'addirirwa Claudia Naluyima eyafunye 20, Rev. Keefa Sempangi yafunye 11, Francis Babu 9, Musisi Lutaakome 6 ate Hussein Lukyamuzi tewali yamulonze. Maama Kisanja yasiimye omukwano ogwamulagiddwa n'asuubiza okubaweereza obuteebalira ng'atuusa obuweereza obulungi.

Ssempangi

Ssempangi

 

ABAVUBUKA
Agnes Kirabo ye yalangiridddwa ku buwanguzi bw'okukwatira ekibiina bendera ku kifo ky'omubaka w’abavubuka akiikirira Buganda mu palamenti. Kirabo yamezze banne bwe baavuganyizza okwabadde Safari Kayihura, Malik Kiberu, Alvin Semambya, Justine Nameere n'ababala. Kirabo yasiimye abavubuka okumuteekamu obwesige n'abasaba okumuwagira ne mu kalulu ka bonna akaddako.

Ate Phiona Nyamutoro ye yawangudde ekifo ky'omubaka omuwala akiikirira abavubuka.
Abakozi nabo baalonze abantu bataano abagenda okubakwatira bendera mu kulonda kwa bonna. Abaayiseemu kuliko: Charles Bakkabulindi, Arinaitwe Rwakajara, Sam Lyomoki, Agatha Namirembe ne Agnes Kunihira eyawangudde eky'omubaka omukazi.

Ku ky’abalema Alex Ndeezi ye yawangudde okukiikirira Buganda. Okulonda kwabaddewo ku Lwomukaaga nga buli disitulikiti yalonze yokka olwokwewala okusaasaanya corona.