MINISITA w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga, Judith Nabakooba alabudde bannabyabufuzi okwewala effujjo wabula banoonye obululu nga bakkakkamu.
Nabakooba era nga ye mubaka omukyala akiikirira Mityana mu palamenti yabadde ku kyalo Kabule mu Munisipaali y’e Mityana, bwe yabadde alagibwa abantu abagamba
nti baabadde ba kibiina kya NUP ekya Robert Kyagulanyi Sentamu nga kati bagenze mu kya NRM.
Nabakooba yayaniriza abavubuka bano abagamba nti baabadde basukka mu 100 era n’abasiima okulaba kye yayise amazima ne beegatta ku NRM.
Abavubuka bano baayanjuddwa Richard Kimbowa amanyiddwa nga Kojja Kimbowa azaalibwa ku kyalo kino.
Kojja Kimbowa amanyiddwa ng’omu ku basawo b’ekinnansi abeeranga nti bakugu
mu nsonga z’omu kisenge ku ttivvi ne leediyo mu ngeri y’obwakkojja.
Abadde waakulusegere n’omugenzi Pasita Augustine Yiga Abizzaayo e Kawaala.
Abavubuka baabawadde emijoozi gya NRM ne baggyamu eza NUP ze bagamba nti engoye za NUP ze baabadde bambadde okulaga nti kati ba NRM era ne balayira okunoonyeza Museveni akalulu.
Kimbowa yagambye nti, ebbanga ddene abadde ayamba n’okuwagira NUP mu bitundu ebitali bimu nga Kampala, Wakiso, Kakiri ne Zzana kyokka kati akyusizza obuwagizi
bwonna n’abuzza mu NRM.
Yagambye nti yakizudde nti Museveni y’asobola okuleeta emirembe ate ye
mwagazi wa mirembe.
Yalaze n’emmotoka kabangali gye yagambye nti, abadde yagitonera Joyce Bagala okunoonyezaamu akalulu naye yagimuggyeeko.
Joyce Bagala avuganya Nabakooba ku ky’omubaka omukyala owa Mityana
ku kkaadi ya NUP.