Kitunzi wa Pogba azzeemu okulumba Fergie

31st March 2021

Mino Raiola, kitunzi wa Paul Pogba azzeemu okulumba Sir Alex Ferguson nti teyali mulungi nnyo nga bw’atiitiibizibwa.

Kitunzi wa Pogba azzeemu okulumba Fergie
NewVision Reporter
@NewVision

Yagambye nti Fergie yali alemesezza Pogba okuzannya omupiira ng’agamba nti wa kibogwe n’amusindiikiriza okuva mu ManU mu 2012. Ayongerako nti bannanyini ManU (aba famire ya Glazer) be baalaga obunafu bwa Fergie nti si mulungi nnyo bwe baakomyawo Pogba mu ManU mu 2016.

“Oyo Fergie si wa kitalo nnyo ng’abasinga bwe balowooza. Yali ayagala buli omu amuyitabe wangi ssebo. Eyamuddangamu oba okumulaga ekituufu ng’amusindiikiriza gy’oli y’amanyi buli kimu,” Raiola eyeeyita ‘Super Agent’ bwe yalumbye Fergie.

Pogba yasooka mu ManU mu 2010 nga Fergie tannamweggyako mu 2012 n’agenda mu Juventus. Eno yayakirayo ate ManU ng’eri mu mikono gya Jose Mourinho n’emugula mu Juventus pawundi obukadde 90.

Omutendesi wa Solskjaer aliwo, Ole Gunnar Solskjaer naye yagugulana dda ne Raiola ng’agamba nti atuuza omuzannyi we era yategeezaako nti, “ManU ne bw’ogwa omuzannyi omulungi nga Messi emutta.”

Fergie 79, yawandiika mu kitabo kye ‘Leading’ nti, “Waliwo kitunzi omu oba babiri be ssaagaala naye Raiola y’omu ku bo. Ono alinga mafia. Twalina Pogba ku ndagaano ya myaka 3 nga kyangu nnyo okugizza obuggya kyokka twalemagana lwa kitunzi we mafia.”

Raiola naye yazza omuliro nti, “Fergie okunnumba kye kikyasinze okunsanyusa. Yamanyiira ba ‘mwami ky’akoba nange kye nkoba’. Oyo Fergie mmugeraageranya ku Sepp Blatter eyagobwa mu FIFA. Ba Glazer bang’amba nti nali mutuufu okusinga Fergie bwe baakomyawo Pogba mu ManU mu 2016.”

Raiola yawadde ManU amagezi okutunda Pogba mu June oba si ekyo waakugendera ku bwereere nga kontulakiti ye eweddeko sizoni ejja kuba tajja kwongezaayo ndagaano ye.

Fergie yawummula obutendesi bwa ManU mu May wa 2013 oluvannyuma lw’emyaka 26 ng’ali mu ttiimu eno.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.