Amangu ddala nga gavumenti ya Kenya ekkiriza kasooli wa Uganda okuyingira mu ggwanga lino, bbeeyi ku katale mu Kampala yatandikiddewo okulinnya.
Kenya olutadde kasooli wa Uganda bbeeyi n'erinnya
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Kkiro ya kasooli yavudde ku 600/= kw'ebadde okumala ekiseera n'etuuka ku 850/= mu ggandaalo lya wiiki.
Ebintu ebirala ebiva mu kasooli omuli bbulandi naye yalinnye okuva ku 400/- okutuuka ku wakati wakati wa 520 ne 550/=.
Moses Musana nga musuubuzi wa Kasooli era mmemba wa Kisenyi Miller's Association yagambye kasooli agenze akandeera mu byalo era nga Kenya okutandika okumukkiriza batono abagenda okuganyulwa mu katale kano.
David Batwale nga naye musuubuzi wa kasooli mu Kisenyi yagambye nti abamu kati batandise ku muggya mu ggwanga lya Tanzania nga bamuyisa ku nsalo e Mutukula.
Eggwanga lya Kenya lyali liyimirizza kasooli okuva mu Uganda ku bigambibwa nti yali alimu obutwa ( Aflatoxins ) obuyinza okulwaza kookolo mu bantu ababa balidde obuwunga obumuvuddemu.
Obutwa buno bugambibwa okuba nga busibuka ku ntereka embi eya kasooli amuleetera okufuna obunnyogovu obusukkiridde wamu n'okkukula.