Katikkiro Mayiga asabye abantu bonna abaasibwa olw'ebyobufuzi bateebwe

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde amagezi nti nga Gavumenti ya Uganda empya  tenalayira abasibe bonna abaasibibwa olw’ebyobufuzi bateebwe ng’erimu ku makkubo agagenda okuleetawo okutabagana n’okutebenkeza emitima gya Bannayuganda.

Katikkiro Mayiga asabye abantu bonna abaasibwa olw'ebyobufuzi bateebwe
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde amagezi nti nga Gavumenti ya Uganda empya  tenalayira abasibe bonna abaasibibwa olw’ebyobufuzi bateebwe ng’erimu ku makkubo agagenda okuleetawo okutabagana n’okutebenkeza emitima gya Bannayuganda.
Okwogera bino abadde asisinkanye abakulembeze abalonde okuva mu disitulikiti y’e Butambala e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri May 5, 2021 n’agamba nti bwotunulira n’emisango egibavunanwa gya byabufuzi egyongera okulekawo obunkenke ng’ate ekiseera ky’okulonda kyaggwa n’agamba nti eggwanga lyetaaga okutabagana okwannamaddala kuba okuvuganya si lutalo.
Rashidah Namboowa Ssentebe omulonde yakulembeddemu abantu bano nategeza nga ye abadde mu Nkobazambogo ne Buganda Youth Council si wakuyiwa Bannabutambala ne Mmengo ebimuleze okutuuka awo waali.
Baguze Satifikeeti okuwagira emirimu gy'Obwakabaka:-Namboowa 100,000/-,RDC Sulaiman Lubwama Bukya 100,000/-,Omumyuka wa RDC Ssalongo Fred Kalema 100,000/-, Ssabagabo Kibibi 100,000/- ne Kibibi TC 50,000/-
Omwami w'essaza ly'e Hajj Sulaiman Magala n'olukiiko lwe beetabye ku mukolo guno era nategeza nga bwebali mu kulwanirira ettaka ly'Obwakabaka wamu n'okuddabiriza enju ye Ssaza eyitibwa Ssemayembe.
Abalala abazze kubaddeko Ababaka ba Palamenti Aisha Kabanda ne Muwanga Kivumbi, Polof. Badru Kateregga, Ababaka ba Pulezidenti e Butambala Sulaiman Lubwama n'Omumyuka we Fred Kalema ate Minisita w'ebyamawulire e Mmengo Noah Kiyimba naye yeetabye ku mukolo guno.