Enkya(Lwakusatu) mu Big League
Kataka FC - Paidha B.A
Enkya(Lwakusatu April 14,2021) Paidha ekyalira Kataka FC e Mbale mu mupiira gwa Kabonge ogwokubiri kw’egyo esatu Paidha gye yaakasamba sizoni eno (2020/21) oluvannyuma lwa ttiimu zombi okukubwa emipiira ebiri egisembyeyo.
Kabonge agamba nti wiiki ewedde teyamatira na mutindo gwa ddifiri nga bakubwa Blacks Power (2-0) ku kisaawe kya Emokori- Mbale, wabula bagenda kulwanyisa ekikoligo ky’obutaba na wiini yonna sizoni eno.
“Twagala wiini mu mbeera yonna, ate tetugenda kukkiriza kusalirizibwa baddifiri baddibaga mupiira gwaffe,” Kabonge bwe yategeezezza.
Godfrey Awachang atendeka Kataka ayagala wiini yaakubiri okuvuganya ku bifo ebyokumyanjo mu kibinja.
Kataka eri mu kifo kya mukaaga ate Paidha y’esembye n’akabonero kamu.
Comments
No Comment