Omukungu Peter James Nkambo Mugerwa 90, aziikiddwa mu kitiibwa e Mmanze -
Masuliita mu Busiro.
Kabaka Ronald Mutebi ll yamutenderezza okuweereza Buganda ne Uganda. Y’omu ku
bannamateeka abaalayiza Kabaka ng’atuuzibwa e Naggalabi - Buddo nga July 31, 1993 ate Kabaka n’amulonda okubeera Ssentebe wa Buganda Land Board (BLB) okuva mu 2002 okutuuka mu 2007.
Nkambo yaziikiddwa ku Ssande. Obubaka bwa Kabaka obw’emirundi ebiri eri ffamire
n’eri Nnamwandu bwasomeddwa Omulangira David Kintu Wasajja.
Yafudde Corona Mugerwa yafudde Corona kyokka we yamukwatidde yasangiddwa nga mugonvu olw’obulwadde bw’akafuba obumuluddeko.
Abadde n’amaka e Muyenga kyokka ng’asinga kubeera ku ffaamu ye e Banda mu Kyaggwe. E Mmanze ku kiggya nayo abaddeyo n’amaka.
Omulambo gwasituddwa abaabadde beekapise ebyambalo nga bambadde n’obukookolo
olwa Corona.
Okuziika kwakulembeddwa okusaba okwabadde mu weema eyassiddwa e Mmanze mu kisaawe. Kyokka omulambo gwasigadde mu mmotoka okutuuka ku ssaawa y’okuziika.
Olwo ne gutwalibwa ku ntaana etakkiriziddwa bantu okutuusa nga kkampuni eyakoze
ku by’okuziika amalirizza olwo bannaddiini ne bafundikira.
Obubaka bwa Mugema akulira Ekika ky’Enkima bwasomeddwa Omutaka Nick Ssali.
Omusumba w’e Kawempe- Kirokole, Rev. George Ninye Kawuma ye yakulembedde okusaba n’ajuliza ebyawandiikibwa mu Yisaya 38: nti “teekateeka ennyumba yo kubanga ojja kufa”. N’agamba nti olw’okuba okufa kwa buli omu, kikulu okweteekateeka.
Eyali Ddiini w’e Namirembe, Can. Magala Musiwufu yayogedde ku Mugerwa ng’omusajja abadde ayamba ennyo era nga ne Musiwuufu yamuyamba bwe yali asoma
mu ttendekero ly’abaawule e Mukono.
Nnamwandu Rebecca Nkambo yategeezezza nti mu maka ge teggwa bantu. Abadde alabirira abaana 65. Bonna ng’abaliisa n’okubaweerera. Ekkanisa y’e Mmanze abadde agifaako okuli n’okulabirira abaweereza.
Bannaddiini Nga Basabira Entaana Mwe Baaziise Nkambo. Ku Kkono Ye Nnamwandu Rebecca Nkambo.
EBIMU KU BIKWATA KU MUGENZI
l. Nkambo Mugerwa yasomera Makerere College, Kings College Budo ne Makerere Yunivasite gye yafuna ddiguli mu kubala. Oluvannyuma yagenda e Bulaaya n’asoma
amateeka mu 1956.
2. Yakolera e Bulaaya okutuusa lwe yadda e Tanzania okusomesa amateeka. Eno gye yava mu 1963 okukomawo mu Uganda.
3.Ye Muddugavu eyasooka okuba Solicitor General mu 1963. Mu kiseera ekyo Godfrey
Lukongwa Binaisa ye yali Attorney General era eyamuwandiikira ng’amuyita okuva e Tanzania gye yali asomesa ebyamateeka.
4. Amin bwe yawamba obuyinza, Nkambo yalondebwa okuba Attorney General era Minisita w’Ebyamateeka okuva mu February 1971 okutuuka mu September
1973.
4. Yatandika kkampuni ya bannamateeka ng’ali n’eyali Attorney General wa Buganda, Fredrick Mpanga ng’ono ye bba wa Muky. Joyce Mpanga era y’azaala munnamateeka
David F.K. Mpanga.
5. Mpanga bwe yafa mu 1976, Mugerwa n’atandika okukola ne looya Matovu era kkampuni yaabwe yeeyubula n’evaamu eya MMAKS Advocates ekulirwa
Apollo Makubuya ne Masembe Kanyerezi.