Ku wiikendi mu lukiiko olwakubiriziddwa Moses Magogo (Pulezidenti wa FUFA aliko), kyasaliddwaawo ligyoni y’ebuvanjuba bwa Uganda (Eastern Region Football Association) okukyaza ttabamiruka w’omulundi guno asuubirwa okutuula nga August 21, 2021 mu disitulikiti y’e Mbale.
Sam Bakiika eyali Ssentebe w'akakiiko akateekateeka okulonda mu 2017, ku kkono ye Edgar Watson akulira emirimu mu FUFA
Oluvannyuma lwa Magogo okukakkasa nga bw’agenda okuddamu okwesimbawo okuvuganya ku bwa pulezidenti ekisanja ekyokusatu eky’omuddiring’anwa, Allan Ssewanyana (nnannyini Katwe United FC ezannyira mu ligyoni ya Kampala) ne Mujib Kasule (Nnannyini Proline FC eya Big League) be balala abavuddeyo mu butongole okuvuganya ku kifo kino.Akakiiko akaategeka okulonda kwa 2017 (2).jpg
Ono ye ttabamiruka ow’omulundi ogwe 97 bukya FUFA etandika kulonda ba pulezidenti baayo mu 1924.
Ba pulezidenti abazze bakulembera FUFA.
Abakungu ba FUFA okuva ku kkono; Ahmed Marsha, Darius Mugoye, Moses Magogo ne Justus Mugisha