Engeri gy'otegeka ekyenkya ky'omwana ekimuwa amaanyi

OMWANA  ng’awezezza emyezi mukaaga atandika okulya emmere era ekyenkya kikulu nnyo eri omwana ono.

Engeri gy'otegeka ekyenkya ky'omwana ekimuwa amaanyi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Omwana mmuwe ki ku kyenkya? 

Annet Kamya omusawo w’endiisa e Lugazi Living Water Medical Centre agamba nti essaawa wakati w'ebbiri n'essatu ez’okumakya, z'essaawa entuufu omwana mw'asaanidde okuliira ekyenkya. 

Mu budde obwo, omwana abeera yetaaga okunywa amata ku kyenkya kuba gayamba okuzimba obwongo bwe,okugumya amagumba,omubiri n’emigaso emirala. Osobola okugamuwera mu buugi, okugakubira mu mmere nga mu kammonde oba ensujju. 

Ebimu ku byokulya by'otandibuusizza maaso ng'otegekera omwana ono mulimu akammonde, oats, mukene, ebibala, enva endiriwa n’ebirala. Bitegeke bibe nga olutabu oba nga obuugi. 

Enfumba y’obuugi bw’omwana n’entabula  ; 

Dr Susan Alupot omukugu mu ndiisa y’abaana okuva mu Mwanamugimu e Mulago agamba nti obuugi bw’omwana obulungi businziira  ku mutindo gwabwo , kiba kirungi okugula obuwunga obulongooseddwa obulungi. 

Gula gguleedi eyookusatu kubanga ebeeramu ebiriisa  ebirungi eri omwana wo.  Bufumbe nga bukwafu bulungi kubanga obuugi omwana alina kulya bulye si kubunywa.

Obuugi mbwongeramu biriisa ki? 

Amagi; 

Amagi galimu ekiriisa ekiyamba okuzimba obwongo n’omubiri gw’omwana. Bw'oba oyagala okugatabula mu buugi, ogafumba n'okubiramu enjuba oba okukubiramu amagi amabisi n'omuwa. 

Obuugi bwe buggya,  buteeke wansi okubiremu amagi amabisi nga bukyayokya , gatabule bulungi n’oluvanyuma obubikkeko okumala eddakiika ttaano ku 10 amagi gaggyiiremu olyoke owe omwana . 

Amata; 

Bwoba wakuteeka mata mu buugi bw’omwana, byombi olina okubifumba ng’obyawudde . Obuugi bwe bumala okuggya n'olyoka obutabulamu amata wabula bulina okuba nga bukwafu bulungi olyoke otabulemu amata ag’ekigero buleme kusaabulukuka.

Bbata n’ekipooli ; 

Bino birimu akawoowo akasikiriza omwana okulya , okuwoomesa n'okubwongeramu ebiriisa ekisobozesa omwana okulya obulungi ekyenkya kye. 

Wabula olina  kubitabulamu ng’obuugi buyidde ate nga bukyayokya. 

Mukene ; 

Mutabule mu buwunga bw’obuugi obifumbire wamu omuwe. Mukene alimu ekiriisa ekiyamba okuzimba amagumba, okulwanyisa endwadde mu baana n'okuzimba obusibage omwana n'atalwalalwala.   

Wabula si kirungi kubugumya buugi obwawoze n'obuzza ku muliro kubanga ebbugumu eryo libumalamu ebiriisa omwana n'ataganyulwamu.             

Butereke mu ffulasika oba okubuteeka mu kikopo n'okituuza mu mazzi agabugumu n'olyoka omuwa. 

Ekitobeero ku kyenkya ky’omwana; 

Bwosalawo okuwa omwanawo emmere ku kyenkya, kyandibade kirungi okumuwa ekitoobero. Mu mbeera eno, olina okumutabulira ebika by’emmere bisatu eby’enjawulo. 

Oyinza okufuna ebika by’emmere bibiri ebizimba omubiri n'ogattamu ekika ky’emmere kimu ekiva mu bisolo ne mu bimera n'ekika kimu eky’emmere  ekiwa omwana amaanyi 

Bw'ofumba ebijanjaalo oyinza okugattamu mukene ,ebinyeebwa n’ebyennyanja n’ekibatu kimu eky’emmere etuwa amaanyi nga omuceere,akawunga, amatooke , akammonde n’emmere endala. 

Emmere eno tugipimisa olubatu lumu , gattamu ekigiiko kimu ekya mukene n'omunnyo mutono ddala n'amazzi ag’ekigero . Giteeke mu bbookisi ogisibire ku mmere ofumbe  . 

By'olina okwewala okuwa omwana ku kyenkya 

Weewale okumuwa ebinnyogoga naddala mu budde obunnyogoga. 

Wewale okuwa omwana amawolu naddala ku kyenkya kubanga emmere eno ebeera ennyogoga, oluusi nga yaterekeddwa bubi n'egendako obuwuka obuyinza okumulwaza. Omwana tasaanidde kulya mawolu kubanga ekyenda kye kibeera kinafu ekikiremesa okukola ku mmere eyo n'atagiganyulwamu.