Abeeyanjulidde nti ohuvu aanyizibwa bw'okukulembera Masaka ne Kalungu bwamukwasibwa ekitebe ekikulu ejy'obusiraamu e Kampalamukadde wansi w'obukulembeze bwa Muft wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje.
Skeikh Kiruuta asinzidde Lukaya mu kusaala Idd nga kutubba ekulembeddwa akulira ettwale e Masaka Sheikh Yashin Nseera.
Tete2
Abategeezezza nti Bakamaabe bamukwasizza sitampu n'empapula entongole ebya Uganda Moslem Supreme Council ebimukakasa nti yaweereddwa obuyiinza obujjuvu okuddukanya emirimo gy'obusiraamu mu Disitulikiti y'obusiraamu eya Masaka etwala ne Kalungu.
Ate Sheikh Nseera annenyezza Bamasheikh abatagoondera Haaya za Quruhan ezibawa obuyiinza ate ne bagugubira mu ntebe nga zibubagyyeko.
Akubirizza Abasiraamu naddala abagagga nti nga te batagabidde baavu,bamulekwa ne Bannamwandu ku mmaali yaabwe n'empeera y'okusiibwa kwabwe ng'ebafudde.
Tete3
Abagambye nti Allah abatunuulira nnyo mu nneeyisa gye beeyisaamu mu kisiibo nga beeyagala ne bstafaayo ku basiiwuuse emimwa olw'okubulwa bye basiibulukukirako.
Nabajjukiza akaseera k'okufa nti eriyo bangi abatakalowoozaako ng'ebyensi bibemazaamu so ng'abaziisi bajja kuggyira mu mmotoka zaabwe ez'ebbeeyi nga gwe baziika takyesalirawo.
Sheikh Nseera abakubiriza okusonyiwagana buli omu bye yasobya ku munne nga bwe balambikiba mu Quruhan.