Bobi Wine ayogedde lwaki atutte abaana be mu Amerika

EBY’OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu eyeesimbyewo ku bwapulezidenti okutwala abaana be mu Amerika bireeseewo ebbugumu mu bawagizi be ateabatamuwagira ne babikozesa okumulumba.

Bobi Wine ayogedde lwaki atutte abaana be mu Amerika
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EBY’OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu eyeesimbyewo ku bwapulezidenti okutwala abaana be mu Amerika bireeseewo ebbugumu mu bawagizi be ate
abatamuwagira ne babikozesa okumulumba.

Kyokka naye asitukiddemu n’annyonnyola kwe yasinzidde okukola kino. Agamba nti obulamu bwa ffamire ye naddala abaana buli mu matigga kuba waliwo ababadde babalondoola.

Mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, abaana ba Kyagulanyi bana baalinnye ennyonyi eyabatutte mu Amerika bagira babeera eyo.

Ku Lwokuna, Kyagulanyi yasinzidde Namayingo gy’ali mu kunoonya akalulu ku leediyo n’annyonnyola nti abadde takyalina kya kukola okuggyako okutwala abaana be ebweru kubanga obulamu bwe n’aba ffamire ye buli mu matigga olw’abantu abazze babatiisatiisa okubakolako obulabe.

Yagambye nti: Okumala emyezi mingi muzze mulaba nga baagala okunkolako obulabe si nze nzekka naye ne ffamire yange wamu n’abantu abalala abanneetoolodde era
abamu batuusiddwaako obulabe ate abalala bafudde.

Wakati mu lutalo lwa ‘Togikwatako’ bbomu zaakasukibwa ku kisenge kya mutabani wange nga baagala okumutta.

Nnafuna amawulire ageesigika nga galaga nga bwe baagala okuwamba abaana bange, olwo basseewo embeera ennyigiriza n’okunteerawo obukwakkulizo.

Abaana natuuka n’okubakyusa amasomero ne kitayamba ate ennaku zino waliwo mmotoka ezibadde zibatambulirako ne maama waabwe buli we balaga”. Bwatyo
Kyagulanyi bwe yannyonnyodde.

Yayongeddeko nti yasooka butakkiriziganya na banne mu byobufuzi ng’omubaka
Betty Nambooze abaali bamuwa amagezi nti wakati mu mbeera eno abaana asooke abeggyeko era nti waliwo ne mikwano gye mu Amerika abazze bamusaba abaana bo
babeere nabo.

Yagambye nti: Oluvannyuma lw’okutuula ne maama waabwe (Barbie Kyagulanyi) ne twogera twakkiriza abaana bagende era bagenze mu Amerika.

Naye kino tekirina kwogeza nnyo bantu kubanga ne Pulezidenti Museveni mu gy’e 80
ng’alwana okujja mu buyinza yatwala ffamire ye yonna e Sweden.

Yagasseeko nti ku baana be tekuli aweza myaka 18 egikkirizibwa omuntu okulonda kasita bo abakulu basigadde.

                              Kyagulanyi Ne Ffamire Ye.

Kyagulanyi Ne Ffamire Ye.

Ebifaananyi ebyasaasaanidde ku mikutu gya ‘social media’ nga biraga abaana ba Kyagulanyi okuli; Solomon Sekayi Kyagulanyi Kampala, Shadrack Mbogo, Shalom
Namagembe, Shine Suubi Nakayi nga bali ku kisaawe e Ntebe bateekateeka kulinnya
nnyonyi n’okutuusa kati bikyayogeza abantu ebikankana.

Era bino byavuddeko n’olutalo lw’ebigambo wakati w’abawagizi ba Kyagulanyi obwedda abagezaako okwanukula abo ababadde batambuza obubaka nti Kyagulanyi okutwala abaana be mu Amerika kiraga nga bw’atidde ate abalala nti ayagala kuttisa baana ba balala ng’ababe tebaliiwo.

Kyokka abawagizi ba Kyagulanyi nabo baayanukudde nti tewali nsobi kutwala baana
mu kifo gye yeekakasa nti bali bulungi olwo amaanyi ge agamalire mu kuwangula kalulu.

Bano era baavumiridde n’abaasaasaanyizza ebiwandiiko bino ku mukitu migattabantu
ebiraga nti abaana Kyagulanyi yabakwasizza Jolly Asiimwe Kyomuhimbo okubatwala era nga baalinnye ennyonyi ya Qatar Airways okugenda e Texas mu Amerika.

Bano nti bagenda kubeera mu emu mu nkambi z’amagye mu kitundu kino (1502 Enclave PKY APT 713 Houston Texas 77077 and Fort Bliss, Texas-US Army Garrison
1741 Marshall Road.)

Omukutu gwa Kampala Post abaasooka okufulumya amawulire nga balaga nga abaana ba Kyagulanyi bwe baabadde bafunye Visa z’Amerika era essaawa yonna bagenda.

Bazzeemu okulaga ng’abaana bano bwe bagenze ne maama waabwe omuto, Jolly Kyomuhimbo Asiimwe wamu ne kojja waabwe, Baron Rubahamya era bagenda kubeera wa muganda wa Barbie ali mu magye ga Amerika.

POLIISI N’AMAGYE BYANUKUDDE
Fred Enanga omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti tebafunangako kwemulugunya kwa ngeri yonna mu butongole okuva ewa Kyagulanyi nti waliwo
omuntu alondoola abaana be.

Yayongeddeko nti poliisi buvunaanyizibwa bwayo okuweereza abantu bonna nga tebaawuddeemu nga basinziira ku ndowooza z’ebyobufuzi ez’enjawulo noolwekyo tewali nsonga lwaki Kyagulanyi yeebalama poliisi n’okuwakanya buli kye bamugamba
ng’ate bayamba ye.

Yawadde Kyagulanyi amagezi akomye enkola y’okwemulugunyizanga mu mawulire, wabula atuukirire ebitongole bya Gavumenti ebirala ng’ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu bw’aba teyeesiga poliisi.

Ye Lt. Col. Deo Akiiki amyuka omwogezi w’amagye yagambye nti eggwanga litebenkedde era tewali muntu yenna atambulira ku bannabyabufuzi ba ludda
luvuganya. Kyokka olw’okuba kiseera kya kunoonya bululu abamu boogera nga baliko bye beenoonyeza.