Abagagga bazzeeyo ku nnyanja awaali akabenje

ABAGAGGA abaasimattuka akabenje k’eryato lya Mv Templa nga November 24, 2018 (emyaka ebiri emabega) ne mikwano gyabwe basitudde ne baddayo ku Mutima Beach e Mubanda mu ggombolola y’e Mpatta mu Mukono ne bawaayo obukadde 50 okuyambako okuzimba Klezia ya St. Ponsiano Mubanda egenda okukola nga ekijjukizo.

Abagagga bazzeeyo ku nnyanja awaali akabenje
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAGAGGA abaasimattuka akabenje k’eryato lya Mv Templa nga November 24, 2018 (emyaka ebiri emabega) ne mikwano gyabwe basitudde ne baddayo ku Mutima Beach e Mubanda mu ggombolola y’e Mpatta mu Mukono ne bawaayo obukadde 50 okuyambako okuzimba Klezia ya St. Ponsiano Mubanda egenda okukola nga ekijjukizo.

“Nzijukira Mukama bwe yanteekako ekisa ne mbeera omu ku baasimattuka okufa akabenje. Mu lyato muno omwali abantu 99, okwali abantu abamanyi okuwuga
nga balina ne jjaketi eziziyiza abantu okubbira, ffe b’ani abakyaliwo?” Omulangira David Wasajja bwe yayogedde.

N’agattako nti, “omugenzi Templa Bisase eyali avuga eryato yali amanyi okuwuga kuba
yatendekebwa magye ga Amerika ag’oku mazzi naye teyasimattuka... Ffe
abaliwo twetaaga okwebaza Katonda kuba yatulekawo lwa nsonga.”

ABAFIIRA KU LYATO

1. Templar Bisase Bakaawonawo boogedde
2. Sheila Bisase
3. John Bosco Owecho
4. Sheila Mbonimpa
Gashishiri
5. Susan Ndaymuhabwa
6. Brian Ndooro (Chuck)
7. Isaac Kayondo
8. Yoweri Musumba
9. Paul Nsobya
10. Esther Arinda
11. Winnie Kobushingye
12. Arnold Mubale
13. John Nyanzi
14. Bilditon Asaba
15. Michael Musisi
16. George William
Ssengendo
17. Moses Muyenga
18. Diane Kanyomozi
19. Ritah Namale
20. Fred Muwaye
21. Denis Wamala
22. Michael Kaddu
23. Tonny Kawuki
24. Moses Muyenga
25. Fred Mawanda
26. Paul Mayanja Ssemakula
27. Sarah Kiraka Lwanga
28. Rehema Ashaba
29. Hajan Nagadya
30. Esther Namutebi
31. Zahra Diyani
32. Peace B. Kainamura
33. Justine Namayanja

Faaza Ng’ayaniriza Omulangira Wasajja.

Faaza Ng’ayaniriza Omulangira Wasajja.

Omulangira Wasajja eyakulembedde bakaawonawo eggulo okugenda okujjukira
bannaabwe 33, abaafi ira ku lyato bwe yagambye.

Wasajja yayanjudde ssente zino nga zaasondeddwa abantu abenjawulo okuli omugagga
Godfrey Kirumira eyatodde 10,000,000/-, looya Masembe Kanyerezi obukadde
10, Bashasha 10, Pius Mugalaasi obukadde 5 ne Freeman Kiyimba obukadde 5.

Ku nsimbi ezo, Wasajja yagasseeko 2,500,000/- ze yawadde ffamire ya John Bosco
Owecho okusasulira bamulekwa ffi izi n’ebyetaago ebirala.

Baagasseeko kkeesi z’engoye bbiri ze baatwalidde abatuuze b’e Mubanda ku Mutima Beach abaabadduukirira.

Beebazizza abatuuze b’oku mwalo guno n’omugagga Danniel Musisi amanyiddwa nga
Gabuda owa Mutima Beach kuba buli lwe baddayo babaaniriza.

KIRUMIRA ALABUDDE KU CORONA
Ssentebe wa Kwagalana eyagenze n’abaasimattuka eryato, Godfrey Kirumira
yasabye abalunnyanja okubeera abeegendereza ku bulwadde bwa Corona nga bagoberera ebiragiro bya minisitule y’ebyobulamu.

Omukolo gwakulembeddwa Ekitambiro kya Mmisa eyasomeddwa Fr. Gonzaga Ssali ow’ekiggo kya St. Paulo Mukono eyakubirizza Abakristu okwetegekera okufa kwabwe kubanga Katonda essaawa yonna atwala abantu be.

Yagambye nti asuubira omusaayi ogwayiika mu kifo kino gugenda kuleetawo enkulaakulana mu kitundu.