Abaffamire y'owa boodabooda eyattiddwa  baagala bwenkanya

Nnamungi w’omuntu yeeyiye ku kyalo Nama 2, mu ggombolola  y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono okuziika omuvubuka Eriya Kamya 30 abatemu gwe baasoze ebiso ebyamusse ku ntandikwa ya wiiki ne bakuliita ne pikipiki ye empya aba famire gye baabadde baakamugulira.

Sanduuke omwabadde omubiri gw'omugenzi Kamya e Nama.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya JOANITA NAKATTE

Nnamungi w’omuntu yeeyiye ku kyalo Nama 2, mu ggombolola  y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono okuziika omuvubuka Eriya Kamya 30 abatemu gwe baasoze ebiso ebyamusse ku ntandikwa ya wiiki ne bakuliita ne pikipiki ye empya aba famire gye baabadde baakamugulira.

Kigambibwa nti Kamya yapangisibwa abasajja babiri ne bamusaba abatwaleko e Bugerere nga bamusuubizza ssente eziwera.

Okusinziira ku Musa Lule abadde mukwano gwe, oluvannyuma lwa Kamya okumala ennaku bbiri ng’abuze, yakolagana n’aba famire ne batandika okumunoonya okutuusa lwe baawulira amawulire ku mukutu gwa leediyo emu ng’eranga omusajja ayalondeddwa e Kayunga ng’afumitiddwa ebiso ng’aliko kikuba mukono.

Kamya baamufumise ebiso mu kabutobuto ne bamutema ne ku mutwe era kyabadde kizibu okuwona.

Lule yagambye nti tebagenda kuwummula okutuusa ng’abantu abasse Kamya ensi ebategedde era nga bavunaaniddwa n’ebibonerezo ebikakali.

Bazadde ba Kamya baasabye poliisi okukozesa obukugu bwayo ne kkamera ezassibwa ku makubo okubayambako okunoonya abantu abasse mutabani we bakwatibwe era bavunaanibwe.