Aba LDU baamukubye amasasi

ABATUUZE ku kyalo Kivu e Buddo mu Town Council y’e Kyengera baguddemu ekyekango mutuuze munnaabwe bw’akubiddwa amasasi abaserikale ba LDU.

Lubega mu ddwaaliro lya platnum e Wandegeya gy'afunira obujjanjabi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Denis Kizito

ABATUUZE ku kyalo Kivu e Buddo mu Town Council y’e Kyengera baguddemu ekyekango mutuuze munnaabwe bw’akubiddwa amasasi abaserikale ba LDU.

Edward Lubega ye yakubiddwa amasasi era mu kaseera kano ali mu mbeera mbi mu ddwaaliro lya Platnamu hospital e Wandegeya.

Sumayiyah Nansimbi eyali ne Lubega mu mmotoka ategeezezza nti zaali ssaawa nga 11:00 mu kiro ekyakeesa ku Ssande nga bava Nabbingo kyokka baba batuuka mu Kabuga k’e Kivu ne basanga abaserikale ba LDU ne babayimiriza kye baakola.

Waayita akaseera katono omuserikale omu n’akuba amasasi mu mmotoka mwe baali ne gakwasa Lubega.

Nansimbi bwe yategeera nti mukwano gwe bamukubye amasasi kyamutwalira akabanga okudda engulu. Bwe yabuuza abaserikale mukwano gwe gyatwaliddwa ne bamutegeeza nti ali mu ddwaaliro e Mulago.

Prossy Nasuuna mwannyina wa Lubega eyakubwa amasasi ategeezezza nti Lubega baamugye e Mulago ne bamutwala mu ddwaaliro lya  platnum hospital  e Wandegeya nga bannoonya obukadde busatu okulongoosebwa.