Spice Diana atabukide abawagizi ba Sheebah Kalungi
May 22, 2021
OMUYIMBI Spice Diana avuddeyo n’alabula abawagizi ba muyimbi munne Sheeba abeeyita ba ‘Sheebaholics’ baagamba nti bayitirizza okumuvuma n’okumuwemulira ku mutimbagano.
Spice Diana atabukide abawagizi ba Sheebah Kalungi
Spice Diana mu kiwandiiko kye yatadde ku mukutu gwe ogwa ‘facebook’ yategeezezza nti talina wadde ekintu ekitono kye yali akoze muyimbi munne sheebah wadde abawagizi be kyokka yeewuunya okulaba nga bamuddako ne bamuvuma olutatadde.
Kinnajjukirwa nti emirundi mingi abawagizi ku njuyi zombi bazze nga beetwala nga buli luuyi tebakkiriza mu balala bye bakoze era nga babeera baagala okukola ekintu ekisinga ekyabwe.
Spice 2
Kino kireetedde bangi okulowooza nti abayimbi bano bandiba nga balina obutakkaanya obuyitiridde ate abalala balowooza nti ekisaawe ky’okuyimba kyandiddamu okubaamu entalo nga bwe gwali mu myaka gye 2000.
Kyokka waliwo n’abalowooza nti n’abayimbi abamu bateekawo entalo naddala nga balina ennyimba empya ze bateekateeka okufulumya oba ze bafulumizza.
No Comment