SIPIIKA wa Palamenti Anita Annette Among Magogo, agguddaewo eddwaaliro ery’omulembe mu kibuga Jinja, erinaayamba okukendeeza ku mujjuzo mu ddwaaliro eddene erya Jinja Regional Referral.
Eddwaaliro lino, erya Glenz Dignity, lisangibwa Mafubira mu Northern Division mu Jinja City,
ery’ebitanda 50, lyaguliddwa ne liddaabiriziibwa Omubaka wa Palamenti, akiikirira abantu b’e Butembe, Zijjan David Livingstone.
Sipiika Among, yaakiikiriidwa bba era Moses Magogo, eyettisse ettu lya Sipiika Among, lya bukadde bw’ensimbi 20 n’ezize obukadde 20, omugatte 40,000,000/-.
Omubaka Wa Bukoto South Dr. Kagabo Twaha Nga Atuuka E Mafubira Ku Ddwaliro Lya Glenz Dignity Mu Jinja City.
Ying. Magogo yeebaziizza omubaka wa Jinja Northern, Isabirye David Aga, olw’okumukkiriza n’okumwaniriza mu kitundu kyakiikirira n’okumwebaza olw’eddwaaliro lino kubanga ligenda kuyamba abantu bangi.
Omubaka wa Bukoto South, Dr. Kagabo Twaha,
yalangiridde nga ye n’abasawo mu Ddwaaliro lya Glenz Dignity bw’agenda okutegeka olusiisiira lw’ebyobulamu mu Jinja, balongoose abalwadde ku bwereere.
Ensimbi ezikunuunkiriza bukadde bw’ensimbi eddwaaliro lino. , Omubaka Zijjan, yasuubiza nga bw’agenda okuggulawo ensawo ya GlenZ. Dignity Foundation, mwennaayita okunoonya ensimbi
n’obuyambi obw’engeri ezitali zimu, ziyambe okusasulira eddagala, abatuuze bajjanjabibwe ku miwendo egya wansi.
Okuggulawo eddwaaliro lino, Zijjan ,yategeezezza nti yamala kulwaza muwala we mu
matumbi budde, n’avuga ekiro, okumutwala e Kampala, ne yeewuunya, omuntu
waabulijjo, atalina busobozi, kyakola mu mbeera eno.
Comments
No Comment