Amawulire

Owa UMEME eyakuba omuserikale n'adduka, bamukutte

OMUKOZI  w’ekitongole kya UMEME gwe balumiriza okukuba omuserikale wa poliisi  n’adduka bamukutte n’alaajanira mu kkomera.

Owa UMEME eyakuba omuserikale n'adduka, bamukutte
By: Moses Lemisa, Journalists @New Vision

OMUKOZI  w’ekitongole kya UMEME gwe balumiriza okukuba omuserikale wa poliisi  n’adduka bamukutte n’alaajanira mu kkomera.

Abaserikale  baali bayitiddwa okugenda okutaasa  embeera oluvannyuma lw’ekibinja kya bamenyi ba mateeka abaali bazinzeeko omwala  ogumu mu muluka gwa Makerere III nga bakuba abantu  ne babanyagulula ekyawaliriza abatuuze okutemya ku poliisi.

Kkaadi Ya Mugumya Eya UMEME Eraga Nti Akolera Ku UMEME.

Kkaadi Ya Mugumya Eya UMEME Eraga Nti Akolera Ku UMEME.

Eno John Mugumya  23, omutuuze mu Good Hope zzooni e Kawempe, omukozi wa UMEME gye yakubira omuserikale akolera ku poliisi y’oku Kaleerwe.

Rogers Musana, akulira poliisi y’oku Kaleerwe yagambye nti  Mugumya  babadde bamunoonya okuva lwe yakuba omuserikale n’adduka.

Ono baamugwikirizza mu Ssebina zzooni, mu kifo abakyamu we bategeera abantu ne babanyagulula ng’era okumuwata yasoose kulwanyisa baserikale.

 

Yagasseeko nti lwe yakuba omuserikale  yayagala n’okumuggyako emmundu wabula abaserikale baakozesa obukugu ne bamulemesa  ng’oluvannyuma yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi ng’okunoonyerezzako bwe kugenda mu maaso.

Mugumya yasoose okwegaana  ng’agamba takubanga ku muserikale wabula oluvannyuma yakkirizza omusango n’asaba  ekisonyiwo  wabula abatuuze abamu baamuwaddeko obujulizi nga bw’alina ekibinja kya bavubuka abamenyi b’amateeka b’akolagana nabo.

Abamu ku baffamire baagambye nti bazze bamubuulirira okwesonyiwa emikwano emikyamu kyokka n’agaana.

Tags:
UMEME
Muserikale
Kulwana
Kaleerwe