Ensawo ya lumonde yatuuse ku 230,000 nga kati tewakyali mulengo gwa 1,000/- era abasing okutunda batandikira ku 2,000/- okudda waggulu.
Abamu ku basuubuzi ba Lumonde ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.
Michael Musiitwa, omulimi era omusuubuzi wa Lumonde ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa mu Kisenyi mu Kampala agamba nti atutte ekiseera nga mutono mu balimi wabula nga kati emiwendo giri waggulu nnyo ekisukkiridde.
David Male, omulimi wa lumonde e Bugerere ate nga musuubuzi wa birime mu katale e Katwe yategeezezza nti bangi ku baali abalimi ba lumonde mu bungi baamuvaako olw'emiwendo egyali emibi mu biseera by'omuggalo gwa Covid-19 nga kyava ku mmere ya matooke okubeera mu kidibo mu biseera ebyo.
Agamba nti abaali baamulima mu bungi baafiirizibwa ate ng'abamu ssente baali baazeewola mu bbanka ne mu bibiina nga kati baamuvaako.
Yayongeddeko nti kyokka n’abo abatono abaali baamulima, baakosebwa olw’ekyeya ekyababuutikira mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo sizooni ewedde ekyavaako mungi obutabala bulungi n'obutagejja .