'Omukazi abunduka amazzi ng'oli lubuto wandiba ne yinfekisoni'

ABAKYALA abali embuto abamu bafulumya amazzi aga kitaka okuva mu bitundu ebyekyama ekibeeraliikiriza ate nga tebamanyi kya kukola.

'Omukazi abunduka amazzi ng'oli lubuto wandiba ne yinfekisoni'
By DEOGRATIUS KIWANUKA
Journalists @New Vision
#Emboozi #Ebyobulamu

Dr Sendi Kalibbala okuva mu ddwaliro e Mengo agamba nti omukyala ali olubuto okubundula amazzi aga kitaka kiva ku nsonga ez'enjawulo omuli;

Ebivaako okubundula amazzi aga kitaka; Enkyukakyuka mu mpulirizo z'omubiri. Omusaayi oguva ku nnabaana okulwawo okufuluma ne gukaddiwa ne gutandika okukyusa langi.

Omukazi w'olubuto ng'alumizibwa

Omukazi w'olubuto ng'alumizibwa

Olumu kiva ku musaayi omungi ogweyongera okugenda ku mumwa gwa nabaana ng'oli lubuto. Olumu kiva ku kwegatta. Ssinga ofuna obuzibu mu nkizi nakyo kivaako okubundula.

Olumu kiva ku buzibu ku nsawo omukulira omwana. Olumu kireetebwa yinfekisoni ku mumwa gwa nnabaana oba ku nnabaana kwennyini. Bwe kiba kikweraliikiriza laba omusawo akuyambe.

Dr. Sendi

Dr. Sendi

Ky'olina okukola; Ssinga amazzi g'obundula gavaamu ekisu, gakusiiwa n'okufuna obulumi mu ndira oba omugongo laba omusawo. Gezaako okulya obulungi ng'oli lubuto n'okunywa ennyo amazzi kino kijja kikuyambako naddala okwoza obuwuka mu mubiri.