Okukola ensigo z'obutiko kulimu omudidi gw'ensimbi

ENSIGO y’obutiko gumu ku mitendera omuntu mw’osobola okufuna ssente. Ekibonyaabonya abalimi kwe kugula ensigo enfu kyokka nga kintu ky’osobola okuwa obudde n’oyiga bwe kikolebwa.

Okukola ensigo z'obutiko kulimu omudidi gw'ensimbi
By Herbert Musoke
Journalists @New Vision
#Emboozi

“Nagiyigira ku yintaneenti nga nkoppa Abachina n’Abamerika abasinga okulima obutiko mu nsi yonna n’okukyalira abalimi abalala”, Abel Kiddu omuwanguzi w’empaka z’omulimi asinga bw’agamba.

Omulimi ng'asiba ebirimiro.

Omulimi ng'asiba ebirimiro.

Annyonnyola nti okukola ensigo mulimu ssaayansi era kyetaaga obukugu obw’enjawulo nga kikwetaagisa akasenge mw’okolera (laboratory), ekyuma ekigifumba, eddagala eriziyamba okumera n’ebirala.

Ebirimiro ebitandise okumera

Ebirimiro ebitandise okumera

“Tukwata obulo ne tubufumbako ne tuteekamu n’ebirungo ebirala olwo ne tubiteeka mu macupa okumala wiiki nnamba. Ekyo nga kiwedde, tukola ensigo yennyini, wano tufumba obulo ne tukola bubbulooka bwe tussa mu buveera olwo ensigo eba ewedde. Zino nazo tuzitunda okutandikira ku 3,000/- ne 6,000/- okusinziira ku bunene b’weccupa”, bw’agamba.