“Nagiyigira ku yintaneenti nga nkoppa Abachina n’Abamerika abasinga okulima obutiko mu nsi yonna n’okukyalira abalimi abalala”, Abel Kiddu omuwanguzi w’empaka z’omulimi asinga bw’agamba.
Omulimi ng'asiba ebirimiro.
Annyonnyola nti okukola ensigo mulimu ssaayansi era kyetaaga obukugu obw’enjawulo nga kikwetaagisa akasenge mw’okolera (laboratory), ekyuma ekigifumba, eddagala eriziyamba okumera n’ebirala.
Ebirimiro ebitandise okumera
“Tukwata obulo ne tubufumbako ne tuteekamu n’ebirungo ebirala olwo ne tubiteeka mu macupa okumala wiiki nnamba. Ekyo nga kiwedde, tukola ensigo yennyini, wano tufumba obulo ne tukola bubbulooka bwe tussa mu buveera olwo ensigo eba ewedde. Zino nazo tuzitunda okutandikira ku 3,000/- ne 6,000/- okusinziira ku bunene b’weccupa”, bw’agamba.