James Mugerwa makanika mu g’galagi e Bwaise mu minisipaali y’e Kawempe alaze obulabe obuli mu butayooza mu tanka y’amafuta
Mu kiseera kino ng’amafuta gali ku buseere, abavuzi b’ebidduka balina okwegenderezza kuba amasundiro agamu gatabika kemiko ez’enjawulo mu mafuta ekivaako amafuta okuwewuka nga tegazitowa n’agamu nga galimu obucaafu.
Bakanika nga baggya amafuta mu ttanka
Kyandibadde kirungi ttanka y’amafuta go n’ogyoza buli luvannyuma lwa myezi 2. Ttanka y’emmotoka mwe muva amafuta agagitambuza nga n’olwekyo bw’ecaafuwala munda sisitiimu (soma system) y’amafuta efuna obuzibu mu ntabuza yaago olwo ebyuma ne bifa nga ne bwe babikanika tebiyinza kutereera.
Ttanka bw’eba eddugala munda kivaako mmotoka okunywa amafuta era kyandibadde kirungi obutakozesa masundiro mangi ng’oganywa. Okunywa amafuta amatono kivaako ttanka okutalagga munda. Bw’eba ejjulira emitwalo 30 ng’onywa emitwalo 9, esobola okutalagga mu bitundu awatali mafuta.
Ttanka bweba eddugala ammotoka efuna obuzibu mu sisitiimu y’entambuuza y’amafuta ekivaako Fuel Filter okucaafuwala n’efuna obuzibu mu kutambuza amafuta n’okulwawo okukuba ‘serefu’ oba okwaka .
Mu bizibu ebirala mulimu; Nozo okuzibikira nga tezisoboola kwokya mafuta bulungi , pulaaga zifa mmotoka n’etandika okupipira , Ggeegi ya mmotoka efuna obuzibu mu kubala amafuta n’ebirala.
Kyandibadde kya magezi lwa myezi 3-5 mmotoka n’ogitwala mu galagi ne basumululamu ttanka ne bajoozaamu.