GENERO Muhoozi Kainerugaba yeeyubudde n’akyusa ekisinde kye ekya MK Movement n’akituuma Patriotic League of Uganda (PLU).
Ku mukolo ggaggadde ku kitebe kya MK e Naggulu, ebikonge mu gavumenti, ekibiina kya NRM, Gavumenti ezeebitundu, abasuubuzi ne bannabyabufuzi beegasse ku kisinde ekipya ekya PLU ne bawera okuwagira Muhoozi mu nteekateeka ze zonna.
Abamu ku baminisita abataalutumiddwa mwana ye: Minisita w’Ebyobulimi n’obulunzi Frank Tumwebaze Kajiji, Minisita wa Microfinance Haruna Kasolo Kyeyune, Minisita omubeezi ow’Ebyobulamu Margaret Muhanga n’ababaka ba Palamenti abasoba mu 50 okwabadde n’aba NUP 2: Twaha Kagabo ne Jimmy Lwanga.
Capt. Mike Mukula ye yakiikiridde Muhoozi n’annyonnyola ekisinde ekya PLU, Muhoozi ky’ataddewo tekyawula mu langi za kibiina, amawanga, eddiini oba ekitundu wabula kya Bannayuganda bonna okwegatta okutwala eggwanga mu maaso.
Ababaka b’ebitundu eby’enjawulo baabaddewo omuli abaavudde mu bugwanjuba, amasekkati, obuvanjuba, Busoga, Teso, Bunyoro nga bonna baalaze obuwagizi bwabwe.
Micheal Mawanda, omu ku bakulembeze mu kisinde kya MK Movement ekyatandika mu April wa 2022, yagambye nti baakitandika n’amaanyi era kikoze kinene mu bukulembeze bwa Gen. Muhoozi mu myezi 17 omuli n’okugatta abantu.
Yategeezezza abaabaddewo n’abalala abaabadde balabira emikolo ku ttivvi ezaabadde zigulaga obutereevu nti, bagenda kwongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe okukunga abantu okuba bannansi abalungi ate ab’obuvunaanyizibwa.
Akabonero k’ekisinde ka ‘mpologoma’.
Langi zaakyo kuliko eya kyenvu, emmyuufu n’enzirugavu.