Kola bino okufuna ssente eziwera mu nkoko ez’ennyama

26th July 2023

OMULIMU gw’okulunda enkoko naddala ez’ennyama abantu bangi bagwenyigiramu olw’okumanya nti mu nnaku 28 zokka enkoko ziba zikuze ng’otunda olwo ng’ofuna ssente.

Nabbaale ng’alaga enkoko ez’ennyama z’alunda..jpg
NewVision Reporter
@NewVision
#okufuna #ssente #nkoko #z’ennyama

Bya Emmanuel Ssekaggo

OMULIMU gw’okulunda enkoko naddala ez’ennyama abantu bangi bagwenyigiramu olw’okumanya nti mu nnaku 28 zokka enkoko ziba zikuze ng’otunda olwo ng’ofuna ssente.

Ebiseera ebisinga enkoko ezitundiddwa mu bbanga lino, zitera okuba nga zizitowa kkiro emu era batera okuzutundira ku 11,000/- oba 12,000/-.

Wabula waliwo enkola etandikiddwaawo naddala mu Kampala ne mu bibuga ebirala ng’abasuubuzi ab’enjawulo batandise okutunda ennyama y’enkoko mu kkiro. Ggwe ojja n’ogamba nti oyagalayo kkiro oba ekitundu kyayo ng’otwala nva waka.

Embeera bweba bweti, naawe omulunzi olina okutandika okulunda enkoko ezigya mu mbeera eno, otandike okulunda enkoko ezisukka mu mwezi ogumu olwo ofune obuzito obwetaagisa.

Ekirungi ku kulunda enkoko ez’ennyama ezisukka mu mwezi ogumu kwekuba nti ne bwe zeeyongera okukula era n’okugejja ekipimo ky’emmere kisigala kyekimu.

Emmere enkoko ey’omwezi ogumu gyerya n’ey’emyezi ebiri gyerya. Ekyeyongeramu ge mazzi.

Ekirala kye weetaaga kye kiyumba ekigazi kubanga we wali olundira enkoko 500 ng’ozitundira mu mwezi gumu, bw’olundirawo ez’emyezi ebiri n’okusukkamu wafunda olwo enkoko ne zenyigiriza ekiyinza okukuviirako obuzibu.

Bwe kituuka ku kugula obukoko obuto, era bbeeyi eri wakati wa 2,500/- ne 2,800/-. Enkoko mu nnaku 28 eba eridde emmere kkiro 3.38. Ekitegeeza mu myezi ebiri ejja kuba eridde kkiro 6.76 nga singa oyongera okugirunda osobola okumanya emmere gyeba egenda okulya.

Ekirungi buli lw’eyeyongera okuwangaala nga tonagitunda n’obuzito nga bweyongera. Emmere entabule kkiro osobola okugifuna ku 1,850/-.

Mu myezi ebiri ng’enkoko zino ozirabiridde bulungi zisobola okuzitowa kkiro ssatu n’omusobyo. Buli kkiro omusuubuzi ogikugulako 11,000/- ng’oli ku ddundiro.

Bibaliriddwa Hawah Nabbaale ow’e Buwambo mu ggombolola y’e Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.