Okimanyi nti naawe mu luggya, obulimiro bw’emimuli, mu kibira kyo, abalina ebifo awasanyukirwa osobola okunogerawo ssente okuva mu balambuzi bano ng’okung’anyirizaawo ebinyonyi eby’enjawulo naddala mu kiseera kino eby’ebikkujjuko by’okumalako omwaka?
Omwami nga yeetegereza ennyange ku kasaalu
Dr. Panta Kasoma omukugu mu by’okulambula mu Makerere yunivasite, agamba nti ng’ojeeko eggwanga okugaziya ennyingiza yaalyo okuva mu bulambuzi bw’ebinnyonyi okuva ebweru w’eggwanga, Munnayuganda owa bulijjo naawe osobola okufuna ku ssente zino.
“Ebinyonyi bino bibeera bya mu nsiko nga naawe osobola okussaawo embeera ebisikiriza okujja mu kitundu kyo era n’ossaawo n’enkola gy’osobola okutegeeza abalambuzi nti waliwo ebinyonyi bye basobola okuggya okulaba ewuwo”, Dr. Kasoma bw’agamba.
Ono awa eky’okulabirako nti mu Buganda, ebinyonyi bimanyiddwa okubeera emiziro, obubonero bw’eggwanga nga kino kitegeeza nti abeddira ebinyonyi ebyo basobola okubeera abalambuzi bo abasookerwako singa osaawo enkola ennung’amu.
“Singa omanya nti ewuwo wasobola okubeerawo ebinyonyi nga; Ennyange, Ng’aali, Namung’oona n’ebirala osobola okukwatagana n’abakulu b’ebika ebyo okukunga bazzukulu baabwe okujja ewuwo okulaba ku miziro gyabwe. Bano babeera baakusasula ssente”, Dr. Kasoma bw’agamba.
Annyonnyola nti ebinyonyi bino osobola okubisikiriza ng’obissizzaawo emmere n’amazzi. “Gye bikoma okumanyiira ebintu bino, biggya kugenda ku bimanyiirawo naawe omanye ebiseera we bigira okulya n’okunywa olwo osobole okutegeeza abaagala okubiraba”, bw’agamba.
Agamba nti ssinga osobola okufuna omulambuzi omu buli wiiki ng’akusasula ddoola 100, kitegeeza nti ofuna 360,000/- olwo omwezi n’ofuna 1,440,000/-. Jjukira ebinyonyi bino osobola okubisikiririza ku kusimba emiti nga, Jambula, ensogasoga, emituba n’ebirala n’otasaamu kinene.
Waliwo ebinnyinyi ebynnyuma okulabako nga amayuba, entawuluzi, emijjonkezi, obusanke, endegeya, enkwenge n’ebirala byangu bya kusikiriza olw’emiti gy’ebibala.