Maureen Namatovu 23, ow’e Makerere – Kavule agamba nti omwana gwe ali ku ddagala lya kkookolo e Mulago naye yamuzaala ng'amaaso ge malamu bulungi nga genkanankana.

Kabugho Ng'asitudde Muwala We Eyaakalongoosebwa.
Oluvannyuma lw’emyezi 3, eriiso lye erya kkono lyatandika okusowokayo mpolampola mu kiwanga ne Lisembera mu maaso nga terikyali ku layini y’emu ne linnaalyo erya ddyo. Wano abasawo we baakamutemera nti omwana alina kookoolo.
Mu buwufu bwe bumu, ne Rosemary Kabugho 35, ow’e Kawempe – Ttula ali mu kulepukka mu malwaliro lwa kawala ke kookolo w’oku bwongo ke yakwata mu 2021 ne bakalongoosa ne kafuna n’obujjanjabi era ne kabumalayo mu May w’omwaka oguwedde kyokka ate kyamubuuseeko obulwadde bwe bwazzeemu okuttuka mu March w’omwaka guno, ekyakaleetedde okuddamu okulongoosebwa.
“Omwana wange bwe yaweza emyaka 6 yatandika okutambula ng’atagala ng’engalo ze zikankana nga kw’atadde okusesema wamu n’okunyiiganyiiga (Mood swings).” Kabugho bwe yategeezezza .

Namatovu Ng'ali N'omusawo Akebera Omwana We.
Okusinziira ku Dr. Victoria Mwebe Katasi, omukugu mu kujjanjaba kookolo w’obwongo mu baana ku ddwaliro ekkulu e Mulago, kookolo asobola okwawulwamu ebiti bibiri okuli ; omukambwe (High grade brain Cancer), n’atali (low grade Brain cancer).
Omukambwe, mwe muli amanyiddwa nga “medulloblastoma” era ono asinga kukwata ku kitundu kya bwongo eky’emabega. Ssinga ekizimba kya kkookolo ono kikwata omwana wo, asobola okutandika okutambula ng’atagala, bw’atuula tatereera abeera ayuugayuuga, ensingo ye nayo ebeera egwa nga tesobola kwesimba n’enywera wakati.
Mu ngeri y’emu ayambusa ne puleesa mu bwongo, ekivaako omwana wo okulumwa omutwe ogw’olutentezi, okusesema, n’okufuna obuzibu mu kulaba.
Waliwo n’ekika kya kkookolo ekiyitibwa “Pilocyctic astrocytoma”. Ekika kino kyo kitera nnyo okumeruka mu kkubo ery’akasimu akatuyamba okulaba erisangibwa mu kitundu ky’obwongo eky’omu maaso.
Omwana wo bw’abeera ne kkookolo ow’ekika kino, okulaba kwe kusobola okukendeera, oba nga bw’atunuulira ekintu nga kiri kimu ate ye akirabamu ebintu bibiri.
Eriiso mu kiwanga libeera teryenkanankana na linnaalyo nga bw’olitunulako ddene ate nga liringa eryagala okugwa.
Kkookolo naye asobola okulinnyisa puleesa y’obwongo. Ate bw’erinnya ng’omwana muto emikisa gye gibeera waggulu egy’okugejja omutwe. Embeera y’okugejja omutwe esobola okuleetera omwana okulwawo okutuula, okwavula n’okutambula.
Obujjanjabi bwa kkookolo waliwo bwa mirundi 3, era kuliko okulongoosa omwana wo ne bamuggyamu ekizimba kya kkookolo (Surgery), okumukalirira n’amasannyalaze ne batta obutoffaali bwa kkookolo (Radiotherapy), oba okumuwa eddagala nga ku lino kuliko ery’amakerenda wamu n’ery’empiso lye bayisa mu misuwa(Chemotherapy).