Emboozi

Endwadde ez’obulabe ezoolekedde okukwata abayiikuuzi ba zzaabu

OKUYIIKUULA ebyobugagga eby’omu ttaka nagwo mulimu Bannnayuganda gwe beenyigiramu okusobola okwefunira ejjamba.

Endwadde ez’obulabe ezoolekedde okukwata abayiikuuzi ba zzaabu
By: Jackson Ssewannyana, Journalists @New Vision

Wabula, minisita avunaanyizibwa ku kukulaakulanya emirimu gy’okuyiikuula eby’obugagga eby’omuttaka, Peter Lokeris, bwe yali mu lukuηηaana lw’abayiikuuzi b’ebyobugagga by’omu ttaka olwafundikira omwaka oguwedde olwali ku  ku Golf Course Hotel mu Kampala, yategeeza nti gavumenti yassaawo etteeka erigenda okuluηηamyanga enzirukanya y’emirimu gy’abasima eby’obugagga mu mu ttaka, erya Mining and Minerals Act 2022.

Minisita Lokeris Lwe Yayogerako N'abasimi B'ebyobugagga Omwaka Oguwedde.

Minisita Lokeris Lwe Yayogerako N'abasimi B'ebyobugagga Omwaka Oguwedde.

 Etteeka lino liwera okukozesa ekyobugagga ekimanyiddwa nga “Mercury” mu kuyiikuula eby’obugagga nga zzaabu olw’ensonga nti wa bulabe eri abantu.

Okusinziira ku kawaayiro 255 (3), ak’etteeka lino, bw’osangibwa ng’okozeseza “Mercury” mu kusima zzaabu, otanzibwa obukadde 100, oba okusibwa emyaka egitasukka 3, oba byombi, n’osasula obukadde 100.

Omuvubuka Ng'alongoosa Zzaabu N'engalo Ze.

Omuvubuka Ng'alongoosa Zzaabu N'engalo Ze.

“Mercury” akosa amawuggwe g’omuntu ssinga abeera agayingiddemu. Okusinziira ku Dr. Patricia Alupo , omukugu mu kujjanjaba amawuggwe ku Lung institute e Mulago, agamba, Mercury afuumuuka n’avaako omukka ogw’oluzzizzi (vapor) ogulimu obutwa, era bw’akuyingira mu mawuggwe nga mungi okumala akabanga, akuleetera  okuwulira okusiiyibwa mu mawuggwe ate gonna ne galunguula ne gafaanana nga agaakasaayisaayi.

Okusiiyibwa kuno kuvaako okukolola, okuziyira n’okulumizibwa mu kifuba. Mu buwufu bwe bumu, Dr. Benjamin Wabwire ow’e Busia, agamba nti “Mercury” bw’akuyingira mu mubiri, si mwangu waakuggyamu n’aggwaamu. 

 

Yayongeddeko nti agenda aggwaamu mpolampola ate atwala ebbanga eriwera nga tannavaamu. “Bw’osika “mercury” n’akuyingira, akukosa obwongo, anafuya ebinywa byo, ate nga bw’obeera omukyala akuviirako n’okuzaalanga abaana abalina obwongo obunafu, ate nga bakula kasoobo.

Tags:
Emboozi