Endabirira ya Sirindaheedi eneewangaaza emmotoka

SIRINDAHEEDI ku mmotoka ya mugaso nnyo era nga y’etuukirwako amafuta n’empewo olwo n’ebisindika mu yingini, emmotoka okusobola okwaka.

Endabirira ya Sirindaheedi eneewangaaza emmotoka
By Molly Nakazzi
Journalists @New Vision
#Agafa ku bidduka #Mboozi #Mmotoka

SIRINDAHEEDI ku mmotoka ya mugaso nnyo era nga y’etuukirwako amafuta n’empewo olwo n’ebisindika mu yingini, emmotoka okusobola okwaka.

 

Bruce Tongire, makanika ku Delo Motors Limited e Kazo agamba nti, sirindaheedi zirimu ebika eby’enjawulo.

Makanika ng'aggyeeyo Sirindaheedi okugirongoosa

Makanika ng'aggyeeyo Sirindaheedi okugirongoosa

Eza petulooli zirina ezaazo n’eza dizero, era zikola mu ngeri ya njawulo nga n’endabika ya njawulo. Noolwekyo olina okufaayo okukozesa ekika ekituufu ekigendera ku kidduka kyo.

 

Okukola obulungi olina okulabirira buli ekigiriko kubanga ebisinga biyita ku yo okukola emirimu gy’okutambuza emmotoka.

Eriko ekyangwe ekiyingiza empewo, obupiira obuyitibwa Nozo obusindika amafuta okuva mu ttanka okugenda mu ‘kyemba’ gye gasisinkanira empewo okuyita mu ‘air cleaner’ olwo yingini n’esobola okusaza n’eyaka.

 

ENDABIRIRA YA SIRINDAHEEDI
Esobola okuwangaala ebbanga eriwerako singa obeera ogirabiridde bulungi.

 

l Singa okizuula nga sirindaheedi erimu enfuufu, kikukakatako okugifuuwamu kubanga buli lw’ogifuuwamu obeera ogiwadde omwagaanya okuddamu okukola nga tetaataaganyiziddwa.

 

l Sirindaheedi ekolagana ne Ladiyeeta eteekebwamu amazzi agayamba emmotoka obutacamuka era buli muvuzi nga tannatandika kidduka asaanye okukebera ku ladiyeeta oba erimu amazzi agamala ekiyamba sirindaheedi obutakosebwa.

 

l Okukola saaviisi mu budde. Kiyambako okukuuma sirindaheedi nga nnamu bulungi kubanga buli lw’okola saaviisi kikuyambako okukuuma ebyuma nga biramu bulungi.