SIRINDAHEEDI ku mmotoka ya mugaso nnyo era nga y’etuukirwako amafuta n’empewo olwo n’ebisindika mu yingini, emmotoka okusobola okwaka.
Bruce Tongire, makanika ku Delo Motors Limited e Kazo agamba nti, sirindaheedi zirimu ebika eby’enjawulo.
Eza petulooli zirina ezaazo n’eza dizero, era zikola mu ngeri ya njawulo nga n’endabika ya njawulo. Noolwekyo olina okufaayo okukozesa ekika ekituufu ekigendera ku kidduka kyo.
Okukola obulungi olina okulabirira buli ekigiriko kubanga ebisinga biyita ku yo okukola emirimu gy’okutambuza emmotoka.
Eriko ekyangwe ekiyingiza empewo, obupiira obuyitibwa Nozo obusindika amafuta okuva mu ttanka okugenda mu ‘kyemba’ gye gasisinkanira empewo okuyita mu ‘air cleaner’ olwo yingini n’esobola okusaza n’eyaka.
EBYONOONA SIRINDAHEEDI
Singa emmotoka tebeeramu mazzi gamala, esobola okugaana okwaka. Kino kivaako sirindaheedi okucamuka n’eyokya yingini n’egyonoona ne kikosa n’ebyuma ebirala n’okuleetera emmotoka okunywa ennyo amafuta.
Enfuufu eyita mu kyangwe: Eno bw’eyingira munda ereetera omusumaali ogubeera ku sirindaheedi okukubagana olwo ekidduka ne kitandika okukola amaloboozi agatali ga bulijjo.
Obutakola saaviisi mu budde kivaako ebyuma bino okwonooneka