BBAATULE eyinza okufuna ekizibu ky’okubuguma n’etandika okuvaamu omukka. Omugoba w’emmotoka olina okutereeza embeera eno nga tennavaako kwonoona bitundu bya mmotoka birala.
l Ebiseera ebisinga kiva ku ‘alternator’ ne ‘dynamo’ ekyaginga bbaatule
l Oluusi amasannyalaze g’emmotoka gasobola okukyankalana ne gajja mangi olwo n’ereeta ekibugumu ekyamaanyi.
l Obuzibu ku katauti ebeera mu ‘alternator’ wano esobola okuleeta omuliro omungi oba n’obutaguleeterako ddala.
Emmotoka ebeera n’amasannyalaze g’eteekeddwa okukozesa kyokka bwe gasukka bbaatule ejjula nnyo ekigiviirako okuwunya n’okuleeta omukka ogubalagala mu maaso.