Emikono egitalina kyakukola sitaani agifunira omulimu (Njogera).
Omukisa gukonkona omulundi gumu naye ebisiraani tebikoowa kukonkona. (Lawrence Peter yali munnabyanjigiriza mu Canada).
Abajaasi si be batanula entalo, bannabyabufuzi be bazitandika (William Westmoreland yali Genero eyaduumira amagye ga Amerika mu lutalo lw’e Vietnam okuva 1964-1968).
Kisingako okufa ng’olwana okusinga okulwanyisa okufa. (Kevin Grant yali muyimbi Mumerika era omwogezi azzaamu abantu essuubi nga kino yakitandika oluvannyuma lw’okujjanjabwa kookolo n’awona).
Gk1
Gavumenti eyo esobola okukuwa byonna bye weetaaga era esobola byonna okubikuggyako (Barry Goldwater) yali munnabyabufuzi, omusuubuzi era omuwandiisi mu Amerika).
Kiyini kibi kujjukirwa malima (Njogera y’Abaganda).
Okwagala kulinga kifuba ekikololwa, tosobola kukikweka. (George Herbert yali mutontomi okuva mu Wales).
Mu buvubuka tugwa mu mitawaana, mu bukadde emitawaana gye gitugwira (Josh Billings linnya eryakozesebwanga kazannyirizi era musanyusa, Henry Wheeler Shaw bwe yabangako ky’awandiise. Yali Mumerika).
Siiwemuke y’afa n’omwami (Njogera y’Abaganda)
Obulungi bukoma ku lususu naye obubi butuuka ne ku magumba (Dorothy Parker, yali mutontomi era omuwandiisi w’ebitabo mu New York).
Ku buli bantu 10 abakwogerako, mwenda bakwogerako bubi, ow’ekkumi akwogerako birungi mu ngeri embi (Yali Mufalansa omuwandiisi era omutaputa w’ennimi).
Okwagala kusiruwaza (Francis Bacon Mufolosoofa eyakolako nga Ssaabawolereza wa gavumenti mu Bungereza).
Atamusuza y’amutenda eggonjebwa (Njogera y’Abaganda).
Tulina amatu abiri n’omumuwa gumu kubanga Katonda yayagala tuwulirize nnyo okusinga okwogera (Epictetus yali Mugereeki Omufolosoofa).
Weerabire ebisago ebyakutuusibwako naye teweerabiranga akukolera eby’ekisa (Confucius yali Mufolosoofa mu China).
Okuba omusanyufa, tekikwetaagisa kumala kufuuka mugagga ng’olina n’ettutumu. Weetaaga kuba mugagga kyokka (Alan Alda Munnakatemba era kazannyirizi mu Amerika. Alina emyaka 85).
Ke weerimidde kakira mbegeraako (Njogera y’Abaganda).