BULI omugoba w’ekidduka lw’alinnya ku muliro okwongera ku sipiidi y’emmotoka kyokka n’etekikola okusinziira ku mugoba nga bw’aba agiragidde kitegeeza nti, emmotoka eriko ekikyamu.
Ebiseera ebisinga kino kiva ku yingini ya mmotoka nga ekooye, era singa kino kibeerawo kitegeeza nti, yeetaaga okukanikibwa mu bwangu obw’ekitalo okwewala okutta ebyuma ebirala.
Abas Nsubuga, makanika ku S.G Garage e Luzira agamba nti, buli emmotoka lw’egaana okulinnya omuliro nga bw’eragiddwa kitegeeza nti, yingini eyinza okuba nga eweddeko ‘Rings’ nga kyetaaga kuzzaako ndala.
Wano yingini etandika n’okukuba amafuta nga gayitamu buyisi (nga tegayita bulungi mu mitendera mituufu) nga kino kivaako n’emmotoka okukuba ekikka.
Buli emmotoka lw’ekkiriza n’etandika okutambula kibeera kitegeeza nti, sisitimu ya wayaringi okuli pulaaga, ‘coil’ n’ebirala biri bulungi kyokka nga eky’okugaana okutuusa omuliro nga bw’ebeera eragiddwa kiva ku yingini.
Emmotoka yonna okusala amaanyi bubeera buzibu bwa yingini. Oluusi omugoba w’emmotoka asobola okulinnya ku muliro kyokka emmotoka n’egaana okuddukira ku misinde gy’agiragidde nga n’oluusi etandika okukola eddoboozi eriraga nti, emmotoka eyo eri mu kukakibwa ate nga kino kibeera kikyamu kubanga kibeera kitta ebyuma ebirala.
Buli yingini lw’ekola ekyo ebeera ekugamba nti, ekooye ng’esaba kugiddaabiriza na kugizza buggya.
Singa okizuula nti, emmotoka eri mu mbeera eno, obeera olina okuddukira mu galagi abakugu ne basiba yingini n’etereera.
Kyokka singa emmotoka egaana okuwanga omuliro nga bw’eragiddwa kyokka omugoba n’alemerako, kiyinza okuleetera emmotoka okukuba omukono oba ‘piston’ ekiyinza okugiviirako okukwamira ku kkubo n’etaddamu kwaka.