By’olina okussaako essira ku mataala g’emmotoka okwewala obubenje

OBUBENJE bw’ebidduka mu budde bw’ekiro ebiseera ebisinga buva ku nkozesa embi eyamataala oba amataala kuba amakyamu.

By’olina okussaako essira ku mataala g’emmotoka okwewala obubenje
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Emboozi #Mataala #Mmotoka #Ssira #Obubenje

OBUBENJE bw’ebidduka mu budde bw’ekiro ebiseera ebisinga buva ku nkozesa embi eyamataala oba amataala kuba amakyamu.

Ying. Emmanuel Aleti owa poliisi eyeekebejja ebidduka eya Inspector of Motor Vehicles (IOV) e Naggulu mu Kampala agamba nti ettaala z’emmotoka bwe zikola okumala ekiseera zinafuwa, ebirawuli ne biguba nga byetaaga okuzigula n’obwegendereza oba kufuna ebirala okusobola okulaba obulungi.

 

Obuzibu bw'amataala
Aleti agamba nti waliwo mmotoka ezirina ettaala emu ng’oyinza okulowooza nti pikipiki ekiyinza n’okukuviirako akabenje ng’obaze bubi.

Oluusi emmotoka eba n’ettaala emu ng’eyaka nnyo ate ng’endala eyaka katono.

Ettaala zonna ziyinza okuba nga zikola wabula nga zaaka kitono olw’ebirawuli byazo okuguba nga kiwaliriza ddereeva okuvugira mu ffuulu (Full light) kyokka nga kyabulabe eri ebidduka ebikuva mu maaso.

Ttaala za mmotoka ziyinza okuba nga zonna zikola wabula nga buli emu etunuza ndali omuli okutunula waggulu oba wansi nga kino kisinga kukosa abo abakuva mu maaso.

Ebivaako amataala obutakola bulungi
Aleti agamba nti ettaala z’emmotoka obutakola buli oluusi kiva ku bamakanika oba abagooza okuziggyamu nga baliko bye bakola wabula mu kuzizzaamu ne batazitereeza.

Okukola okumala ebbanga nga tezirongoosebwa birawuli.

Okukola okumala ebbanga ne zinafuwa.

Okukyusa ettaala z’emmotoka oba ppikipiki n’ossaako ezaaka ennyo kyabulabe eri abali ku kkubo abalala.