BBEEYI y’amafuta ne ssaaviisi ya mmotoka byongedde akatale k’emmotoka eza yingini entono azigambibwa okuba nga zikekkereza.
Wabula abamu ku bazivuga balemeddwa okuzifunamu kye baali basuubira olw’okuzikwata obubi.
Badru Wakabi, omusuubuzi wa mmotoka ate nga makanika waazo e Nakawa agamba nti okugula mmotoka eya yingini entono n’ekigendererwa ky’okukendeeza ku ssente ezisaasaanyizibwa ku mafuta oluusi kiyinza obutatuukirira nga bw’oba asuubira.
Beesanze nga ssente ze bakekkereza ku mafuta n’okukola ssaaviisi eya ssente entono ate ziggweera mu galagi. Emmotoka zino zifa nnyo naddala mu magulu yaayo (Suspension) ate ng’ezisinga zisikira mu maaso nga kino kiva ku buzito bwe zitikka.
Emmotoka zino ziweebwa yingini n’ebintu ebirala ebizigendako okuli n’emipiira nga bya sayizi ntono.
Weesanga nga nnyini yo agitaddemu abantu abawera kuba zibaamu emitto nga eza yingini ezamaanyi. Kino kiziviirako okunafuwa amangu.
Oba teweetaaga kugitikka buzito bungi. Olw’okutikka ennyo ddereeva awalirizibwa okulinnya omuliro nga ggiya aba alina kuvugira mu nnene ate nga kino kitegeeza okunywa amafuta.
Emmotoka zirina kutambulira ku nguudo nnungi omutali binnya. Ebinnya bizikosa era okukkakkana nga tova mu galagi n’olemwa okukekkereza nga bwe wali oyagala.