Baabano abakola ensaano mu bijanjaalo okwanguyiza ababifumba!

MU kaweefube w’okwongera okwanguyiza bannayuganda okufumba ebinjanjaalo n’okwongera okwettanira okubirya, waliwo Bannayuganda abayiiya abatandise okubikubamu ensaano kino kiyambeko okwanguya mu kubifumba.

Baabano abakola ensaano mu bijanjaalo okwanguyiza ababifumba!
By Emmanuel Ssekaggo
Journalists @New Vision
#Emboozi

Omu ku bo ye Emmanuel Ainamani okuva mu kkampuni ya Best Beans nga bano baasalawo okukola ensaano mu binjanjaalo n’ekigendererwa eky’okubisobozesa okuggya amangu.

Ainamani ng'alaga saketi y'ebijanjaalo ebikubiddwaamu ensaano. emigaati ne keeke nabyo birimu ebinjanjaalo.

Ainamani ng'alaga saketi y'ebijanjaalo ebikubiddwaamu ensaano. emigaati ne keeke nabyo birimu ebinjanjaalo.

Ainamani agamba nti okufaananako ne kasooli, bw’omukubamu akawunga ayanguwa mangu okuggya okusinga nga ofumbye mpeke enkalu. Ono agamba nti omuntu kimutwalira ekiseera kinoto okugoya akawunga ne kaggya oba okufumba obuugi okusinga okufumba empeke za kasooli.

Mu ngeri y’emu n’ebijanjaalo ebikubiddwaamu ensaano byanguwa okuggya nga byefaananyirizaako afumba obuugi wabula ng’ate empooma esigala y’emu.

Ssinga bannayuganda bannettanira okufumba n’okulya ebijanjaalo ebikubiddwaamu ensaano, kijja kuyamba ku kukendeeza amanda ageeyambisibwa mu kufumba ebijanjaalo ate n’ebiseera omuntu by’amala.

Waliwo n’ebintu ebirala ebiteekebwamu ebijanjaalo okugeza nga emigaati, kkeeki n’ebirala nga singa omuntu abirya afuna ebiriisa ebiri mu bijanjaalo.