OMWANA oluzaalibwa, amabeere y’emmere ye gy’asookerako okunoonya olw’ebiriisa ebijjuvu ebigalimu nga n’ekisinga kye kizimba obwongo. Olw’okuba amabeere ddagala kkulu ku mwana, bw’aba talina nsonga yonna emulobera abasawo bamulagira okuyonsa omwana okutuuka ku myaka ebiri.
Kyokka wadde amabeere ga mugaso, waliwo bamaama abazaala abaana ate ne babulwa amabeere olw’ensonga ez’enjawulo ekikonzibya abaana olw’obutaliisibwa bulungi.
Grace Nakimuli, agamba nti, ggwe alina ekizibu ky’obutaba na mabere, eddagala liri mu kattulula.
Kano kasime oggyeko emirandira ogisekule n’oluvannyuma ogigatte mu ntula ofumbe onyweemu amazzi.
Amabeere gatandika okujja olwo omwana gw’oyonsa n’akkuta bulungi era n’akula nga bw’alina okuba. Eddagala lino linywe okusinziira ku bwetaavu bw’amabeere. Bwe gayitirira nga oliwummuzaamu.
Ebirala ebireeta amabeere kuliko;
l Mukene nga ono omufumba tosoose kumusiikako n’ossaamu ennyaanya oba omuzigo oluvannyuma n’owuuta.
l Katunkuma naye aleeta amabeere nga omunoga n’omufumba n’owuuta.
l Obuugi bwa kasooli naddala nga temuli mata nabwo buleeta amabeere