GIYA BOX kitundu kikulu ku mmotoka era kisangibwa mu boneti y’emmotoka. Kiyamba okukendeeza ku muliro gwa giya liiva n’okusaasaanya amaanyi okuva ku yingini ppaka ku lupanka lw’emmotoka.
Keefa Mulumba, Makanika ku Rashim and sons garage ku lubiri ring road e Mengo agamba nti giya box olina okigiwa saaviisi mu budde okusobola okugikuumira mu mbeera ennungi
Giya box erina okufuna saaviisi mu budde era nti nga bw’olaba ebitundu ebirala, era yeetaaga ‘’ lubrication oil’’ kiyambeko ebyuma ebiri munda obutatalagga n’okutambula obulungi.
1.Bulijjo kebera obungi bw’amazzi mu giya box; amazzi gano gayambeko okukendeeza ku bugumu obusukkiridde nga kino kiyambako okutangira ebyuma okubabirira n’okwonooneka.
2.Kyusa amazzi ga giya box; buli kidduka lwe kitambula mayiro eziri wakati wa 30,000-60,000 (48,000-97,000 km) obeera olina okukyusa amazzi ago kubanga gabeera gakaddiye.
Okuteekamu ‘’Hydrolic Fluid’’ nakyo kika kya mazzi agayambako ku byuma obutatalagga n’okutambula obulungi.
3.Omukugu ayina okufaayo okulaba nti ekika kya fluid ky’okozesa kigendera ku mmotoka kiyambe ebintu okutambula obulungi.
4.Weewale ebbugumu erisukkiridde n’okusika emigugu emizito.
5.Tosiba nnyo bbureeki oba okukozesa kulaaki ekisusse. Buli lw’olinnya omulundi ogumu obeera oleetera ebyuma bino okwonooneka.
6.Okuziyiza obutuli obutono obuviirako amazzi okutonnya nga gava mu giya box.
10.Kozesa ekyuma ekitambuza amazzi ekiyambako okuyonja n’okukuuma ebyuma bya giya box nga biramu.