Ng’abazadde batandise okuzzaayo abaana baabwe ku masomero ab’e Mukono bbo balaze obwenyamivu olw’embeera y’ebyenfuna by’eggwanga lino etabanguse ekibakaluubiriza okufuna ensimbi okuzzaayo abaana baabwe mu masomero.
Okusinziira ku muzadde omu Teopista Nabankema alina abaana bataano wabula ng’ababiri basomera ku ssomero lya Bishops Secondary School e Mukono ono agambye nti okusomoozebwa kw’afunye kwe kusasaanya ensimbi ezisoba mu bukadde 2 ku baana babiri bokka ku fiizi n’ebyetaago kyokka nga byonna bya buseere ddala.
Ategeezezza ng’era bwe basanze n’okusomoozebwa olw’enkuba etonnye nga tesalikako ekaluubirizza ennyo eby’entambula, ekiwadde abagoba b’ebidduka bonna okuli aba zi taxi n’aba bodaboda omwaganya okulinnyisa ebisale byaabwe.
Pius Mulumba,ng’ono naye muzadde ategeezezza ng’ amasomero amangi e Mukono bwe gaayongezza ebisale byaago okutuuka ku bitundu 15 nga kwogasse n’agamu ku masomero okubabinika ebintu eby’ebbeyi ate nga bya buwaze omuli enkumbi, enso ezisaawa omuddo Ream z’empapula ezisoba mu ssatu n’ebintu ebirala kyokka nga bya bbeeyi nnyo.
Robert Kyakulaga ng’ono y’akulira essomero lya Bishops High School ategeezezza ng’abazadde bwe bajjumbidde okuzzayo abaana baabwe ku ssomero lino era ng’abazadde baatandise ku ssawa bbiri ez’okumakya okubaleeta.
Anyonyodde nti omuwendo gw’abazadde ogusukka mu 60% bwe baabakkiriza okusasulako ekitundu ku fiizi ne baweebwa ebbanga eggere okumalayo fiizi zino okusinziira ku baana omuzadde b’alina.
Akulira eby’enjigiriza ku ssomero lya Mukono Kings High School George Mbaziira ategeezezza nga ku mulundi guno bwe bateeseteese ebigenda okuyamba ku bayizi okukwata obulungi ebibasomesebwa mu Curriculum eno ekyali empya, ekyakaluubiriza amasomero agamu.